TOP
  • Home
  • Kalondoozi
  • Lwaki amagye ganyoolagana ne poliisi olw’omukazi agambibwa okumanya abatta Kaweesi!

Lwaki amagye ganyoolagana ne poliisi olw’omukazi agambibwa okumanya abatta Kaweesi!

By Musasi wa Bukedde

Added 20th October 2017

Yasibirwa mu nnyumba nga 15/09/17, era n’ateekebwako abaamagye mukaaga okumukuuma okulaba nti tafuluma waka we.

Mbabazikaweesi1 703x422

GIWEZE emyezi 7 bukya  eyali omwogezi wa poliisi,  A/IGP Andrew Felix Kaweesi  attibwa okumpi n’amaka ge  e Kulambiro.

Abantu bangi  bakwatiddwa nga bateeberezebwa  okuba mu lukwe okuli  ne Christine Muhoza Mbabazi  gwe basibidde mu nju ye  nga kigambibwa amanyi  abatta Kaweesi Omusasi waffe yamusisinkanye  n’amutegeeza by’amanyi. 

OMUKAZI Christine Muhoza  Mbabazi 38, eyali munywanyi  w’omwogezi wa poliisi  y’eggwanga A/IGP Andrew Felix  Kaweesi, atadde ebitongole  by’ebyokwerinda mu ggwanga  ku bunkenke naddala poliisi  bwe yagenze mu maka ge  okumununula ku be yabadde  agambye nti baamuwamba  ne bamusibira mu maka ge  kyokka amagye ne galemesa  poliisi okumununula. 

Ono akuumirwa mu maka  ge e Lungujja mu zooni ya  Ssendawula, gye yasibirwa akulira  ekitongole ky’ebyokwerinda  eby’omunda Frank Kaka Bagyenda,  ng’agamba nti waliwo  abantu abaagala okuggyawo  obulamu bwa Mbabazi ng’ate  baakizudde nti alina obujulizi  obw’enkukunala obulumika  abantu abatta omugenzi Andrew  Felix Kaweesi eyali omwogezi  wa poliisi mu ggwanga.

 babazi nga bwakaaba ku mulambo gwa aweesi e ubaga Mbabazi nga bw’akaaba ku mulambo gwa Kaweesi e Lubaga.

 

  Yasibirwa mu nnyumba nga  15/09/17, era n’ateekebwako  abaamagye mukaaga okumukuuma  okulaba nti tafuluma waka  we.

Okusooka yali alowooza  bya mannyowenu naye gye  byabbulukukira ng’abaamagye  abaali bamukuuma baweze 10  era we mpandiikidde bino nga  kati akuumwa ggye erikuuma  Pulezidenti, erya Special Force  Command (SFC) nga nabo bali  10. 

Nafunye omukisa ne  nsisinkana Mbabazi kyokka  ensisinkano yaffe yabaddewo  nga 21 September ng’amagye  tegannanyoolagana na poliisi  mu maka ge. 

Okugenda ewuwe  namaze kufuna mawulire ge  ag’okusibirwa awaka era ne  nsobola okuyingira ewuwe nga  nneefudde omu ku booluganda  lwe ava e Kabale nga mmwetikkidde  n’obummonde. 

Bwe natuuse ku geeti okukonkona,  abakuumi bannyanirizza  ne kajjogijjogi w’ebibuuzo;  ggwe ani, ova wa, ozze kulaba  ani, wasemba ddi okwogerako  naye?

Takkirizibwa kulaba  muntu yenna.

Nabategeezezza   nti ndi ssenga w’abaana be.  Olw’okuba nabadde nsoose  kukubira Mbabazi ssimu okumutegeeza  nti nzija, amangu ago  yazze ku geeti, ne yeegayirira  abaserikale banzikirize nnyingire  nsobole okutwala omu ku baana  agende asome, bwe batyo ne  bandeka ne nyingira. 

Nalabye munda mu kikomera  nga mulimu buweema abaamagye  mwe basula, era bantunuulidde  nkaliriza okwetegereza omuntu  gwe batamanyi ayingidde mu nnyumba  gye baabakwasa okukuuma  naye nze nga ngumidde ku Mbabazi  eyabadde antwala mu nju. 

Nga tuyingidde mu nju, saasanzeemu  wa magye olwo nga Mbabazi  lw’ansanyukira n’okumbuuza  abeewaabwe e Kabale gy’oli nti,  mbamanyi.

 

Okumbuuza eby’e  Kabale yabadde awuddiisa  bamukuuma. Yabadde andaba  ng’omununuzi we nti kubanga  yali asibiddwa mu nnyumba nga  tewali muntu amanyi bimuliko, si  poliisi wadde Pulezidenti, ng’alaba  nti okubitegeeza munnamawulire  ensi ejja kumanya ebigenda mu  maaso mu bulamu bwe. 

Wakati mu kukulukusa amaziga,  Mbabazi yatandise emboozi  y’okusibwa kwe bwati;

Ku Lwokutaano nga 15/09/17,  akulira ekitongole kya ISO mu  ggwanga Frank Kaka yankubira  essimu n’angamba nti yeetaaga  okunsisinkana amangu ddala, nti  agenda kunsindikira emmotoka  ennone entwale gye yali. 

Yasindika emmotoka ekika kya  Double Cabin, evugibwa omusajja  Lt. Kagimu naye ng’akulirwa  Lt. Jjuuko, kyokka ono omwami  (Jjuuko) abadde mulabe wange  okumala ebbanga ddene, tanjagala. 

Omulimu gwe akola gwa  kunoonyereza mu ISO.

Ensonga  Christine Mbabazi Omugenzi Kaweesi. 

Mbabazi alojjedde owa Bukedde entabwe w’eva  kw’ava obutanjagala zeekuusa ku  bya kugaana kumuganza. Ekirala  ky’ampalanira agamba nti, nze nsisinkana  Pulezidenti n’ampa ssente  nnyingi, ate nga bo tebasobola  kumusisinkana.

  Mukulu Kaka yampeereza emmotoka  gye sikyajjukira nnamba,  zaali ssaawa munaana ez’emisana,  nagitya ne nsaba omugoba waayo  Kagimu kuba naye mmumanyi,  nvuge eyange n’akkiriza ne  mbagoberera, bantuusiza ku wooteeri  emu (esirikiddwa) e Lubaga. 

Bwe bantuusaayo nasooka  kutya nga nneebuuza lwaki Afande  Kaka ampita mu kifo bwe kiti, nali  nkyebuuza ne ndaba emmotoka ye,  essuubi ne linziramu kubanga ye  mbadde mmumanyi nga musajja  mulungi era mukwano gwange. 

Nayingira munda, ne bantwala  mu kasenge mukulu Kaka mwe yali,  namusanga ku kabbiya ng’anywa  atudde ku kitanda, mwalimu  n’entebe. 

Yangamba nti; “Mbabazi nnina  amawulire amabi gy’oli, omanyi ku  kufa kwa Kaweesi?” ne mmubuuza  nti ate lwaki? n’anamba nti; “nnina  okumanya kubanga mmalirizza  okunoonyereza kwange ne nkizuula  nti olina kinene ky’omanyi ku kutemulwa  kw’eyali omwogezi wa poliisi  A/IGP Andrew Felix Kaweesi era  njagala okumanya okuva gy’oli”. 

Yatandika okumbuuza; “Mbabazi  waliko ADC (omuyambi) wa  Kaweesi?”, ne mmugamba nedda  ssebo, Kaweesi yali mukwano  gwange ng’omuntu ebbanga ddene,  naye sirina kye mmanyi kya maanyi  gy’ali, n’ambuuza nti; “Tewagenda  ku mikolo gy’okulima ebiggya bya  Kaweesi?” ne mmutegeeza nti nze  ndi mulokole sirima biggya. 

Yantegeeza nti, okunoonyereza  kwe kumulaze nti nange nali mu  lukwe lw’okutta Kaweesi , nti  kubanga omuvubuka eyavuga  abatemu abaamukuba amasasi  annumiriza nti nali mu lukiiko  olwasembayo okuteesa ku kuttibwa  kwa Kaweesi olwali ku kifo ekisanyukirwamu  ekimu (kisirikiddwa)  ekiro. 

Ebyo olwaggwa, yaleeta omuvubuka oyo gwe saamanya  mannya, ng’ali ku mpingu, yali  amukuumidde mu kasenge  ka wooteeri akaddako, yali  Rasta ng’alina amaaso manene,  alina ebiviiri ebikulu ne  sigida y’Abasiraamu mu kyenyi,  ng’amaaso mamyufu alinga ava  okunywa enjaga. 

Bwe yamuleeta mu maaso  gange n’antunuulira, Kaka  n’ambuuza nti, Mbabazi  omusajja oyo omumanyi, ne  mmugamba nti; Nedda, kwe  kubuuza omuvubuka nti , “oyo  omumanyi?”, ko omuvubuka nti  ye “oyo ye Mbabazi”. 

N’atandika okunnumiriza  ng’agamba nti; Mbabazi nze  nkumanyi, twali ffenna (ekifo  kisirikiddwa) mu lukungaana  olwasembayo okuteesa ku ngeri  y’okutemula Kaweesi, wali ne  …., afande …., …. owa Flying  squad, …., ….., …. owa Flying  squad, ….. akola mu ofiisi ya  ….. n’abalala. (yamenya amannya  7 kyokka gasirikiddwa) 

Natunuulira omuvubuka  n’ebigambo ne bimbula, kuba  nga by’ayogera sibimanyi. 

Abamu ku bantu be yayogerako  nti twali nabo mu lukiiko  lw’okutta Kaweesi, ng’abamu  mbalaba ku ttivvi sibamanyi.

Ekiseera ekyo, Kaka yali  anzigyeko essimu, omuvubuka  ono yayongera okunnumiriza  nti, omunene omu yampa obukadde  200 ‘nkwasaganye’ ddereeva  wa Kaweesi nti ku lunaku  lw’atemulwa bw’aba afuluma  nga Kaweesi mwali nti ateekeko  amataala abatemu bamanye.

Kaka yayita omusajja oli  bwe tutakolagana Lt. Jjuuko,  n’amugamba nti; “Mbabazi  agamba nti tagendangako ku  malaalo ga Kaweesi” kyokka  ne Jjuuko n’ayongera okunnumiriza. 

Omuvubuka ono yayogera  nti ye yavuga abatemu abatta  Kaweesi, nti nga nze mbasomera  engeri yonna ey’okumufunamu  nga ndi wamu ne ddereeva we. 

Ng’eno amaziga bwe gampitamu,  nasaba Kaka akozese  obumanyi bwe anoonyereze  amazima aleme kugendera ku  by’abalala. 

 

Bansibira mu wooteeri 

Kaka yantegeeza nti amaze  okunoonyereza era azudde amazima,  n’asalawo nti agenda kunsiba,  mu kasenge ako kennyini  mwe namusanga.

Yassaako  obukuumi obw’amaanyi nga  konna keetooloddwa baserikale  n’angamba nti; “Christine you  are under arrest”. 

Nagaana okulya ekintu  kyonna mu wooteeri nga  nneekengera okumpa obutwa,  kuba omuntu eyali awomye  omutwe mu kunnumiriza ate  yali mulabe wange, nagezaako  okwogerako n’abawala abakola  mu wooteeri, naye nga bandaga  bubonero bw’okukwata ku  mimwa nti baali babagaanye  okwogera nange. 

Ndi nnamwandu, baze  yafa kati emyaka 15 emabega  n’andekera abaana basatu ,  nze nnyaabwe era kitaabwe,  kati okunsiba nabo oba nga  abasibye.

Lt. Jjuuko yaggyamu ekisumuluzo  mu luggi lw’ekisenge  kyange n’akitwala.

Naleekaana  ne nkuba enduulu nga ndaba  essaawa yonna bagenda kunzita,  omujaasi omu yakubira Kaka  essimu era n’asindika abantu be  ne banzigya ku wooteeri eno ku  ssaawa nga mwenda ez’emisana.

Bantwala ku ofiisi za ISO e  Nakasero ne mbeerayo okutuusa  kumpi ssaawa mukaaga  ogw’ekiro.

Yangamba nti talina  bukuumi bwa kumpa ssaawa  zino, nti era obulamu bwange  bwali mu matigga. 

Kaka bwe namwegayirira nti  sirina musango, yantegeeza nti  agenda kunnyamba ansibire mu  nnyumba yange, era ne bandeeta  ekiro ekyo okutuuka ewange,  naye amasimu gange gombi  tebaaganziriza.

Wadde ndi waka  ndi ku bunkekenke sikkirizibwa  kufuluma, baateekawo abajaasi  10 be bankuuma kati. 

Famire ya Mbabazi 

Mu kaseera akatono  ke nsibiddwa ewange,  olw’obunkenke bwe ndiko,  abaana bange nabagaba mu  benganda n’emikwano ne  nsigaza omu wano kuba ndi mu  kutya essaawa yonna bagenda  kunzita.

Nsaba bwe mba nnina  omusango gw’okutta Kaweesi  nga bwe bagamba, bantwale  mu mbuga z’amateeka zinnamule,  naye Kaweesi yali mukwano  gwange gwe sisobola kukola  kintu nga kino.

Omuvubuka agamba nti  ye yavuga abatta Kaweesi  bamulina, ate alina abanene  b’alumiriza, bababuuze ku  butemu buno.

Enkolagana ye n’ebitongole  by’ebyokwerinda 

Mbabazi agamba; okubeera  mukwano gw’abakuumaddembe  bannyanguyira, ndi mukyala  atalina musajja, baze yafa nkyali  muwala muto, nnina abaana  abeetaaga obuyambi. 

Natuukirira abantu bangi  omuli n’abakuumaddembe  y’ensonga lwaki nasisinkana  abantu nga bano, naye nnina  n’emikwano emirala abatali  bakuuumaddembe. 

(Wabula eriyo abamanyi  Mbabazi, abataayagadde  kwatuukiriza mannya gaabwe,  abagamba nti bba yali  munnamagye, y’ensonga  lwaki omukyala ono akolagana  n’abebitongole ebikuumaddembe). 

Frank Kaka, akulira ekitongole  kya ISO agamba nti  okusibira Mbabazi mu nnyumba  baakikola okumutaasa ku bantu  abaagala okuggyawo obulamu  bwe ate nga bamwetaaga  olw’obujulizi obw’amaanyi  bw’alina ku musango  gw’okutemula eyali omwogezi  wa poliisi mu ggwanga A/IGP  Andrew Felix Kaweesi. 

Wiiki eno, omwogezi wa poliisi  mu ggwanga, A/IGP Assan  Kasingye yavuddeyo n’ayogera  ku mbeera ya Mbabazi  n’ategeeza nti, Mbabazi yabakubira  essimu wiiki ewedde nti  baamusibira awaka, era poliisi  okuli; Lungujja, Nateete ne Old  Kampala ne zigendayo okulaba  ekiriyo, kyokka abajaasi abali  munda mu maka ga Mbabazi ne  babalemesa okuyingira. 

Yagambye, baakwataganye  n’amagye ne bamanya ensonga,  nti era abaserikale mu ngoye  za bulijjo baasigaddewo nga  balawuna wabweru w’amaka  ge okulaba embeera eriwo, kati  abaserikale abatalina ludda  aba Special Force Command  (SFC) be bakuuma Mbabazi,  ng’okunoonyereza ku misango  egimuteekebwako bwe kugenda  mu maaso, bwe kunaggwa  atwalibwe mu kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

20141largeimg216jan2014094040380703422 220x290

'Paasita' Kiwedde ayimbuddwa

Paasita William Muwanguzi, amanyiddwa nga ‘Kiwedde’ ayimbuddwa kkooti oluvannyuma lw’okumalako ekibonerezo ekyamuweebwa....

Amasomero gafunye ebisaawe eby'omulembe...

Amasomero abiri (2) gabinuka masejjere oluvannyuma lw'okufuna ebisaawe eby'omulembe

Cranebank 220x290

Bbanka Enkulu eneetunda eby'eyali...

Bbanka Enkulu yawola bbanka ya Crane Bank obuwumbi 478 okuyamba obutagwa kyokka nga ku zino esuubira okweddiza...

Kadag 220x290

Kadaga atadde gav't ku nninga ennyonnyole...

SIPIIKA Rebecca Kadaga alagidde gavumenti okunnyonnyola amakubo g’ekutte okukangavula abajaasi ba UPDF abagambibwa...

Cctv2 220x290

Gav't eyagala Palamenti egikkirize...

Gav't eyagala Palamenti egikkirize okwewola obuwumbi 400 okugula kamera eziketta abamenyi b'amateeka