TOP
  • Home
  • Kalondoozi
  • Ku ttemu erikudde ejjembe poliisi esaagira etya mu musango gy’abakwatiddwa n’emmundu mu bukyamu!

Ku ttemu erikudde ejjembe poliisi esaagira etya mu musango gy’abakwatiddwa n’emmundu mu bukyamu!

By Musasi wa Bukedde

Added 26th October 2017

Poliisi ng’emaze okukwata abantu abo, yagenda n’eyaza amaka ga Narinder n’ebifo eby’enjawulo gy’akolera emirimu ne basangayo emmundu 11 ne bbaasitoola emu.

Misango1 703x422

Omusumba Muwanguzi

MU Kalondoozi eyafulumira mu  nga October 19, 2016, twakulaga  engeri poliisi gye yakwata omusumba,  Johnson Kato Muwanguzi  ow’ekkanisa ya Graceland Church  esangibwa mu zooni ya Nabunnya  e Lubaga.

  Muwanguzi yasangibwa  n’emmundu ez’ebika  eby’enjawulo n’amasasi agasukka  mu 100 ebigambibwa nti yali abirina  mu bumenyi bw’amateeka. 

  Leero tukuleetedde  engeri omusango guno  gye gutambulamu ne batuuka  n’okuggya Muwanguzi ku fayiro  mu ngeri etetegeerekeka so nga  emmundu zaali mu mannya ge! 

Alipoota eyakolebwa D/SP Herbert  Wanyoto, akola ng’omumyuka  wa Dayirekita w’ekitongole  ekinoonyereza ku misango  egy’amaanyi ennyonnyola bino; 

August 12, 2016, aba Special Investigation  Division (SID) e Kireka,  baafuna amawulire nti, Patel Narinder,  akulira Ssissa Club Ltd, nga  mutuuze ow’e Nakigalala- Kajjansi  ekisangibwa ku luguudo lw’e Ntebe  mu Wakiso, nti mu bukyamu yafuna  emmundu bbaasitoola nnamba  S/No. UG.IND AKP 194018373  n’amasasi ana (4). 

Kigambibwa nti bbaasitoola  eyogerwako waggulu, yazuulibwa  Magidu Odour Kiisa n’agiwa Col.  Abimanya, akulira bambega mu  ggye erikuuma pulezidenti erya Special  Force Command (SFC) ono ye  yagikwasa poliisi.

Bino okubaawo,  Magidu yasooka kulya mu banne  olukwe okwali Abdul Malik Omukurat  ne Vincent Dukunda bwe baali  bagenze ku misoni y’okubba ssente  ku ssundiro ly’amafuta ne supamaketi  eby’omuyindi Patel (atali oyo  ayogerwako waggulu) esangibwa e  Kitgum. 

Nga tebannagenda kubba, Magidu  yakyusa ekirowoozo n’asalawo  kubba mmundu.

Kirowoozebwa  nti olw’okuba yali yaakayimbulwa  mu kkomera ku misango gy’obubbi  yatya okuddamu okukwatibwa  okuzzibwayo mu kkomera.

Babiri  baali baasisinkanako mu kkomera  e Kigo ku misango egy’enjawulo,  Malik yali avunaanibwa kulya mu  nsi lukwe ate Magidu ng’ali ku gwa  bubbi. 

 saabawabi wa avumenti ike hibita Ssaabawabi wa Gavumenti Mike Chibita .

 

POLIISI ETANDIKA OGWAYO 

Poliisi ng’emaze okufuna bbaasitoola  okuva ewa Col. Abimanya,  baggulawo omusango gw’okubeera  n’emmundu mu bukyamu ku fayiro  nnamba SD GEF 126/2016, ne  132/2016.

Poliisi yagenda mu maaso  n’okunoonyereza okukkakkana  ng’ekutte abantu ab’enjawulo okuli  Patel Narinder, Omusumba Johnson  Kato Muwanguzi, Abdu Malik  Omukurat, Vincent Dukunda, Alex  Sentare, Moses Harman Otanga ne  Richard Okalebo. 

Ng’emaze okukwata abantu abo,  yagenda n’eyaza amaka ga Narinder  n’ebifo eby’enjawulo gy’akolera  emirimu ne basangayo emmundu  11 ne bbaasitoola emu.

Wabula oluvannyuma  kyazuulwa nga ku zino  ttaano teyazirinaako biwandiiko era  ng’azirina mu bukyamu.

Emmundu ze baalina 

  • one shotgun S/  No.11085, 
  • BRNOP-Arms 3006 rifle S/no  01957, 
  • BAIKAL 20 gauge shot  gun S/No ZH-18EM-M,
  • MIROKU 12 gauge  shot gun S/No 51421 NP,
  • MIROKU 12 gauge shot gun S/  No 39314NP, 
  • Remington model  1100N786335V (Shot gun),
  • BENELLI  –pump Action S/No V051911, 
  • MIROKU 12 gauge shot gun S/  No 44856 NN,
  • BROWNING  12 gauge shot gun S/No  469442 MM,
  • GEFAR 12  gauge shot gun S/No 111442, 
  • TAURUS MIAMI PISTOL (Brazil)  S/No NB 65463,
  •  Endala (shot gun) S/no 132973. 

Omusumba Muwanguzi teyasooka  kukwatibwa, wabula abalala be  baasooka okukwata be baayogera  nti naye alina emmundu ate n’ezo  ze baali basanze azirinako akakwate.    

Poliisi oluvannyuma yakwata  Muwanguzi era n’ekizuula nti yalina  emmundu ssatu okuli SR S/No.UG.  IND.112121 01552 ne Pump Action S/  no UG.IND2538 01551 kuno gattako  amasasi gaazo 32, n’emmundu ya Short  gun eno yaliko amasasi 195.

Era yasangibwa  n’amasasi ga baasitoola 3 kyokka  bbaasitoola nga teriiko.

  BAVUNAANA MUWANGUZI 

Alipoota eraga nti, January 24,  2017, Muwanguzi yalabika mu kkooti  n’avunaanibwa omusango gw’okubeera  n’emmundu n’amasasi mu bukyamu. 

Omusango yagukkiiriza era ne  bamusalira ekibonero eky’okukola  omulimu gw’okulongoosa ku ofiisi za  Ssaabawaabi wa gavumenti okumala  ekiseera!

 Mu mbeera eno, Jane Okuo, omwogezi  wa ofiisi ya Ssabawaabi wa  gavumenti yagambye nti ssinga omuntu  asangibwa n’ebyokulwanyisa mu bukyamu  okugeza nga guluneedi, bbomu,  emmundu, ebisosonkole by’amasasi,  amasasi, obutwa bw’amazzi, omukka  gw’obusagwa n’ekintu ekirala ekiyinza  okukozesebwa mu lutalo nga kyabulabe  eri obulamu bw’omuntu aba amenye  ssemateeka.

Era asibibwa butasukka  myaka etaano oba okuwa engassi  etasukka mitwalo 5 oba okuweebwa  ebibonerezo byombi. 

KKOOTI 

Ku kkooti e Makindye nayogeddeko  n’omulamuzi, Fortunate Nyipir ali mu  musango guno n’antegeeza nti guli ku  fayiro nnamba MAK/00/CR/1625/16.

 Newankubadde nga alipoota ya  poliisi ekulaga abantu musanvu abavunaanibwa  emisango gy’okusangibwa  n’emmundu, n’amasasi n’ebirala, naye,  ekiwandiiko okuva ew’omuwaabi wa  gavumenti (RSA) okuwandiikiddwa emisango  egivunaanibwa abawawaabirwa  nga kibasindika okugenda mu kkooti  kiriko abantu bataano bokka. 

Oba olyawo eyo teyandibadde  nsonga nga poliisi ababiri yabaggyako  olw’okubulwa obujulizi obubaluma,  naye ekyewuunyisa nti ne Muwanguzi  gw’eragira ddala mu alipoota nti yasangibwa  n’emmundu, ku bavunaanibwa  taliiko! 

Ye kijja kitya okuba nga Muwanguzi  y’omu, alipoota eraga nti yakkiriza  omusango mu kkooti ne bamuwa  n’ekibonerezo ky’okulongoosa ewa  DPP, kyokka ate fayiro eri mu kkooti  nga taliiko!

 Ate nga ne bwe yandibaddeko kijja  kitya okuba nti yaweebwa ekibonerezo  ate ng’omusango tegutandikanga kuwulirwa! 

Ku fayiro eri mu kkooti n’omusango  nga tegusalibwanga wadde okutandika  okuguwulira bano be bavunaanibwa Patel  Narinder 63, (Muyindi), Abdu Malik  Omukurat, 36, abeera mu Kakungulu  zooni e Kawempe, Vincent Dukunda  27, musuubuzi abeera Salaama mu  Makindye, Alex Ssentale 27, akola gwa  bukuumi, abeera Mon-Bunyu, Divizoni  e Kitgum ne Herman Moses Otang 24,  akola gwa buweesi naye abeera Kitgum.

EMISANGO EGIBAVUNAANIBWA 

Alipoota eyongera okulaga nti, Patel  Narinder avunaanibwa emisango okuli  okubeera n’okutunda emmundu ttaano  mu bukyamu n’omulala gumu gwa kutunda  mmundu mu bukyamu gye yaguza  Emma Alvin Bakame ekika kya Glock  nga bbaasitoola S/No. AKP 194 *UG.  IND. AKP .194 01873 enkola ya Austria. 

Mu August 13, 2016, D/AIP John  Paul Okao, akola ku musango nga  yeeyambisa obuyinza obumuweebwa  Ssemateeka yayaza ennyumba ya Narinder  n’asanga emmundu 11 nga ku zino  ttaano tazirinaako biwandiiko wadde  nga omukaaga yazirina mu mateeka. 

Wano yaggulwako emisango etaano  nga buli mmundu n’omusango gwayo. 

Ezitaalina biwandiiko kuliko shotgun S/  No.39314 NP, shotgun -Baikal Rassia S/  No.IZH-18EM-M, shotgun S/No.51421  NP, shotgun S/No.46942 MM, shotgun  S/No.44856 NN. 

Magidu Odur Kiisa, Abdul Malik  Omukurat, Vincent Dukunda, Moses  Herman Otang ne Alex Ssentale  wakatiwa June ne July, 2016 nga bali mu  bifo eby’enjawulo okuli Kitgum, Soroti,  ne Kampala beenyigira mu bubbi nga  bakozesa emmundu ne batta n’omuntu  era nga guno gwe musango gwe baali  bavunaanibwa. 

“Wabula omusango gukyagaanyi  okutandika okuwulirwa kubanga fayiro  ya poliisi okuli obujulizi obulaga abantu  bano nti bazza emisango, aba poliisi  tebagireetanga!

Kati kituwadde obuzibu  okutandika okuguwulira nga tewali  bujulizi.

Era omusango guno gunaatera  okugobwa, kubanga tetulina kya kugukolera  nga n’abantu abaali abataano  kusigaddeko babiri bokka!”

Ani yayogedde  bino?  Kino kitegeeza nti essaawa yonna  omusango gwandigobwa kubanga tewali  bujulizi buluma basibe ne fayiro yaabwe  tekyaleetebwa.

Kati kiwadde n’abasibe  embavu okukangaza nti baleete obujulizi  obubaluma oba si ekyo bateebwe,  n’ebizibiti eby’emmundu n’amasasi  bikyali mu mikono gya poliisi kubanga  kkooti tennabisaba. 

 

KKOOTI BW’EZZE ETAMBULA 

Omu ku bakozi ku kkooti ataayagadde  kumwatuukiriza mannya yagambye nti: 

Nga 25/10/16, omuserikale wa poliisi  eyakola okunoonyereza ku musango  guno yaleeta fayiro y’emisango gino  mu kkooti, ku olwo abasibe bataano ne basindikibwa  ku alimanda.

Omulundi ogwaddako, abawawaabirwa  baddamu okulabika mu kkooti ne fayiro omuserikale  wa poliisi n’agireeta era abasibe bonna ne bateebwa ku  kakalu ka kkooti. 

Ku mulundi ogwokusatu lwe baalina okudda okweyanjula  mu kkooti ku bantu bataano, kwaddako basatu  bokka!

Omuwendo gweyongera okukendeera ne  basigala babiri nga be bakyajja mu kkooti, era ne mu  kiseera kino be bajja bokka! 

Wabula Malik ng’ali ne looya we, yakkiriza omusango  mu maaso g’omuwaabi wa gavumenti n’akkirizibwa  okusasula emitwalo 20.

Bwe yakikola yajja ne lisiiti mu  kkooti era n’ateebwa, kati omusango ne gusigalako  abantu babiri okuli Narinder ne Dukunda.

Kyokka  Magidu, Ssentale ne Otanga baabula. 

Emirundi egimu abawawaabirwa Narinder ne  Dukunda bajja mu kkooti kyokka olubuuza kaanso wa  Narinder okuwaayo empoza ye ng’asaba okusomerwa  omusango oguvunaanibwa omuntu we kyokka nga  fayiiro teriiwo.

Ku fayiro eno kw’alina okusinziira  okuwaayo empoza ye.

Omuwaabi wa gavumenti alina  kusinziira ku fayiiro ya poliisi okusomera avunaanibwa  emisango egimuvunaanibwa. Era, Kino kye kivaako  okwongezaayo omusango enfunda eziwera. 

SSAABAWAABI WA GAVUMENTI 

Mike J. Chibita, Ssaabawaabi wa gavumenti  yagambye nti: emisango egyogerwako minene era  tetugenda kugireka kufa gityo, noolwekyo kyetaagisa  okuddamu okuyita fayiro tugitunulemu, tulabe nga  tukola ekyo ekisaanidde okukolebwa.

Emmundu kye kimu ku bizibu by’eggwanga  olw’okukozesebwa entakera okutta abantu. Abakwatiddwa  nazo mu bukyamu balina okukangavvulwa awatali  kuttirwa ku liiso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...

Newsengalogob 220x290

Ayagala tuddiηηane

WALIWO omusajja twali twagalana n’awasa omukyala omulala ne bazaala n’abaana naye kati yakomawo gyendi nti ayagala...

Newsengalogob 220x290

Sikyafuna bwagazi kwegatta

Naye ng’omwami wange alina abakyala abalala basatu nze takyanfaako era agamba nti abakyala abalala bamusanyusa...

Newsengalogob 220x290

Lwaki abasajja abamu tebaagala...

LWAKI abasajja abamu tebaagala bakazi oba muwala aliko embuzi?

Lovelies 220x290

Ebisoomooza ku mitendera egy’enjawulo...

ABAMU basala magezi ga kubuvaamu, sso ng’oyo atannabufuna asiiba asaba n’okwegayirira Lugaba amufunire omutuufu....