TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakazi beekembye naye lwaki obwenkanya ku mirimu bukyabesambye!

Abakazi beekembye naye lwaki obwenkanya ku mirimu bukyabesambye!

By Musasi wa Bukedde

Added 14th March 2019

DORAH Adokorach buli ku makya akeera kutuula mu ttulakita n’agitutuza ng’egenda okukola emirimu egitali gimu. Agamba nti ttulakita kw’atambuliza obulamu bwe era buli ku makya azuukuka akimanyi nti omulimu gwe guli ku ttulakita. Wabula ekyebuuzibwa kiri nti ayisibwa era afuna kyenkanyi nga omuvuzi wa ttulakita omusajja bwe bakola omulimu gwe gumu?

Sasula 703x422

Dorah Adokorach avuga tulakita mu minisitule. Ku ddyo, Omujaasi wa UPDF omukazi akuuma Pulezidenti.

Hajji Nasser Ntege Ssebaggala ensibuko y’abakazi okutandika okukola emirimu egibawa ssente nga tebagikolera waka agiruka okuviira ddala ng’aweza emyaka musanvu egy’obukulu ng’agamba nti mu kiseera ekyo yalabanga abakyala nga beenyigira mu mirimu egitali gimu naddala ogw’okufumba emmere mu butale kubanga naye ku myaka egyo yalingako emirimu gy’aweereza mu katale.

ENGERI ABAKYALA GYE BEEYUBUDDE KU MIRIMU

Okweyubula kuno kwagendera ddala mu maaso okutuusa omukyala Zzana bwe yaggulawo ebbaala y’omukazi eyasooka mu kitundu ky’e Zzana ekyamubbulwamu. Ono nno yali ng’azibudde abakyala amaaso.

Mpolampola beegatta ne ku mirimu egyali egy’abasajja omuli okuvuga takisi ng’omukyala eyasooka okugivuga baamuyitanga ‘Mwambalampanvu’. Ono yavuga nga takisi ekika kya Pegeout 504 era ng’ono yagivugira nga ku luguudo lwa Kampala -Ntebe.

Oluvannyuma abakyala baagenda bettanira omulimu guno okutuusa Idi Amin we yafuuka Pulezidenti olwo ne baguddukamu.

Oluvannyuma lw’akeegugungo ka Bannayuganda nga beekalakaasa olw’obutaba na waakukolera, paaka enkadde yatondebwawo era amaduuka g’Abaddugavu ag’enjawulo gatandikibwa ne kiwa abakyala omwagaanya okwongera okwenyigira mu bizinensi.

Bangi tebaali bayivu era bwe baayingira bizinensi, baasinga kwenyigira mu kutunga ngoye era emyaka gya 1970 we gyatuukira, nga n’abo abatalina waakukolera mu kibuga nga balukira waka ebitambaala.

Idi Amin we yagobera Abayindi ng’abakyala balaze obusobozi bwabwe mu kukola emirimu egitali gya waka era tekyewuunyisa nti mu kugaba amaduuka g’Abayindi, waliwo n’omukyala Night Mboowa eyeefunira edduula. We tutuukidde leero nga kizibu okwawula omulimu gw’abaami n’abakyala.

DDALA OBWENKANYA MU MIRIMU TUBUTUUSEEKO?

Ennaku zino kyangu okulaba abakyala nga bakuba pulaani z’amayumba, nga balongoosa n’okujjanjaba abalwadde, nga bavuga ennyonyi n’ebidduka ebitali bimu n’emirimu egitali gimu.

Kyokka wadde guli guti, Dr. Maggie Kigozi omukugu mu byenfuna annyonnyola nti we tutuuse wawa essuubi naye gakyali mabaga.

Annyonnyola nti obwenkanya mu mirimu businze kweyolekera mu bitongole bya Gavumenti ng’eno abakyala gye basinze okufunira omukisa ogukulembera ebitongole ebitali bimu oluvannyuma lw’okwolesa obukugu.

Kyokka olw’okuba nti mu buli ssomo erisomesebwa ku yunivasite likolebwa abawala n’abalenzi, ne kano kabonero akalaga nti wamma ddala obwenkanya mu mirimu babutemedde omusingi naddala mu biseera eby’omu maaso ng’abawala bano bamalirizza emisomo gyabwe.

Wabula Viola Naluwooza ng’ono munnabyanjigiriza ali mu bizinensi y’amasomero annyonnyola nti obwenkanya tetunnabutuukako era nga bwe tuteegendereza, ffe abali mu nsi ezikyakula, tuyinza n’obutabutuukako.

Kino agamba nti kiri bwe kiti olw’ensonga ffe kennyini abakyala twekotoggedde ne tulema okukkiriza nti naffe tusobola.

Kino kyeyolekera mu ngeri abakazi gye beetwalamu ng’oli ne bwe yeetuusako ekirungi, akikola mu bulumi ng’alowooza nti balina kukimukolera bukolezi gamba okuyambako mu kusasula fiizi z’abaana, okwegulira ebintu ebitali bimu nga emmotoka nga kino abamu bakikola bakaaba mu kulowooza nti byandibadde bibaweebwa buweebwa.

Okwesaasira okw’ekika kino n’okulowooza nti buli kimu balina kukitukolera, Naluwooza akkaatiriza nti kye kikyasibye obwenkanya mu mirimu egy’enjawulo anti n’abo abatandikawo bizinensi ezimu bakikola beenyooma era nga gye biggweera nga n’ababalaba babanyoomye.

Ebbanga lyonna lye yamala mu bukulembeze ng’omumyuka wa Pulezidenti, Dr. Specioza Wandira Kazibwe annyonnyola nti enkyukakyuka ez’omuggundu zaakolebwa okulaba ng’ekitonde ekikazi kifiibwako.

Agamba nti abawala bali tebafiiriddwako era obwenkanya mu kuwa abaana abawala n’abalenzi obuyigirize tebwaliwo ekyabawaliriza n’okufuula amasomero agamu agaali ag’abalenzi n’abawala ne gafuulibwa ag’abawala bokka. Kuno kwaliko; Tororo Girls, Iganga SSS ne Aboke SSS.

Okwo kwe baagatta n’okuteeka abasomesa abakyala mu masomero gano naddala abasomesa b’okubala. Mu birala ebikoleddwa kuliko; okugabira abaana abawala akabonero kamu n’ekitundu nga beegatta ku yunivasite.

Okutondawo ekitongole ekivunaanyizibwa ku nsonga z’ekikula ky’abantu mu ggwanga n’ekigendererwa eky’okuleeta obwenkanya mu ggwanga.

Dr. Kigozi annyonnyola nti eky’okubeera ng’abamu ku bakuumi ba Pulezidenti bakazi, kabonero akalaga nti abakazi balina obusobozi.

OKUKOLEBWA OKUSOBOZESA OBWENKANYA MU MIRIMU WAKATI W’ABAKYALA N’ABAAMI

Kyokka nga wadde, Gavumenti egezezzaako, wekyetaagisaawo amaanyi naddala mu kukyusa amateeka agatali gamu okugeza nga eryo eriragira abakyala 30 ku buli 100 okutuula ku bukiiko obufuzi mu kkampuni ezitali zimu.

Dr. Kigozi akkaatiriza nti bwe tubeera tunoonya bwenkanya obwenkomeredde, abakyala n’abaami abakkirizibwa okutuula ku bukiiko buno balina okuyisibwa mu bwenkanya Wabula ye Naluwooza agattako nti ssinga abakyala tetukyusa ndowooza yaffe, lubeerera tujja kweraba nga abatalina busobozi mu bintu ebimu ekijja okutusibira emabega.

EBISOOMOOZA ABAKYALA MU KUKOLA EMIRIMU

Obukulembeze bwetaaga kumalirira: Meeya wa Lubaga Joyce Ssebuggwawo agamba nti, okusoomooza kungi okuli ku mukazi okukulembera abantu.

“Okusooka abaami abamu balowooza nti, omukyala talina ky’asobola kale nno alina okulaga amangu obusobozi bwe. Nze eky’okuba omukungu wa Kabaka kinnyamba kinene okukulembera kuba mpeebwa ekitiibwa mu bantu aba buli ngeri.

Wadde nze ebinsoomooza nfuna bitono kyokka bakyala bannange naddala abakyali abato ebibasoomooza omuli okukwanibwa basajja, okulowooza nti abakyala bategeera kitono ne bagezaako okubabba mu ngeri ez’enjawulo n’ebirala ntoko.

Buvunaanyizibwa bwaffe abakulu okulambika abaana bano beeyongere obuvumu era bakole okumalayo obwongo bwabwe ku buli nsonga lwe banaakakasa abaami nti nabo basobola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Story 220x290

Bamukubye kalifoomu ne bamuwamba...

POLIISI y'omu Bbuto ekisangibwa e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kira eronze omuwala Joan Nagujja (32) mu kiwonvu...

Wanika1 220x290

'Okusomesa abaana eddiini kye ky'okulwanyisa...

AKULIRA yunivasite y’Abasiraamu asabye Bannayuganda okukosomesa abaana eddiini ng’ekyokulwanyisa okumalawo ebikolobero...

Card1 220x290

Kiki ekifuna sizoni eno?

Obadde okimanyi nti ku 40,000/= osobola okutandika bizinensi ya Success Cards ne wenogera ensimbi?!

Uneb3 220x290

Ebigezo by'e Mbarara byatuukidde...

Ebigezo bya S4 ebya UCE byatuusidwa ku Poliisi y'e Mbarara nga bikuumibwa butiribiri abaserikale ba miritale...

Exams3 220x290

Ebibuuzo bya UCE 2019 bitandise...

Ebibuuzo bya S4 bitandise na kigezo kya Physics Practicals.