TOP
  • Home
  • Kalondoozi
  • Ettaka 1 nga liriko ebyapa 2 ku Namugala ne BLB ani anaawa Kiruddu ettaka ataase abatuuze ekivundu

Ettaka 1 nga liriko ebyapa 2 ku Namugala ne BLB ani anaawa Kiruddu ettaka ataase abatuuze ekivundu

By Musasi wa Bukedde

Added 20th June 2019

Enkaayana z’ettaka lino okulinnya enkandaggo kiddiridde Palamenti okuyisa bbiriyooni 4 zikozesebwe okugula n’okuzimba ekkungaanyizo lya kazambi kitaase ku mbeera abatuuze b’omu kitundu kino gye baludde nga beemulugunyaako olwa kazambi ava mu ddwaaliro n’akulukutira mu mayumba g’abatuuze.

Kiruddu1 703x422

Abasawo abakolera ku ddwaaliro lya Kiruddu nga balambula ettaka erikaayanirwa.

 

EBY’ETTAKA ly’e Kiruddu gavumenti ly’eyagala okugula ezimbeko ekkuhhaanyizo lya kazambi ava mu ddwaaliro ly’e Kiruddu bifuuse nnamulanda nga mabeere ga mbwa. Ettaka lino erya yiika ebbiri erisangibwa mu Valley zooni e Salaama Kiruddu-Munyonyo mu ggombolola ya Makindye liriko ebibuuzo ebiwerako ku ngeri gye likyalemesezza gavumenti okutandika okuzimbako ekinnya kya kazambi. Mu kiseera kino waliwo enjuyi ssatu ezirikaayanira nga buli lumu lugamba nti lyalwo. Kalondoozi alondodde obwannannyini bw’ettaka lino:

ENSIMBI BBIRIYOONI 4 ZAAYISIBWA PALAMENTI OKUGULA ETTAKA LINO

Enkaayana z’ettaka lino okulinnya enkandaggo kiddiridde Palamenti okuyisa bbiriyooni 4 zikozesebwe okugula n’okuzimba ekkungaanyizo lya kazambi kitaase ku mbeera abatuuze b’omu kitundu kino gye baludde nga beemulugunyaako olwa kazambi ava mu ddwaaliro n’akulukutira mu mayumba g’abatuuze.

ETTAKA LITABUDDE OMULANGIRA NE BUGANDA LAND BOARD

Ettaka lino lyasooka kutabula ab’ekitongole kya Buganda Land Board n’Omusika wa Ssekabaka Daudi Chwa II, Omulangira David Namugala Mawanda nga buli ludda lulikaayanira nti lyalwo era buli omu alina ebiwandiiko bye yawadde mu KCCA, minisitule y’ebyobulamu n’ekitongole ky’amazzi okukakasa obwannannyini ku ttaka lino.

Mu kiseera kino Gavumenti eri mu kattu olw’enkaayana zino ng’esobeddwa ani nnannyini omutuufu gw’egenda okusasula ensimbi z’ettaka lino oluvannyuma lwa buli ludda okuwaayo ebiwandiiko ebiraga obwannannyini bwalyo.

Twalondodde ensonga z’ettaka lino era ne tukizuula nti kati enjuyi ezirikaayanira ziri ssatu gavumenti z’erina okusooka okukkaanya nazo nga tennakwata nsimbi zino kubaako gw’eziwa.

Buganda Land Board egamba y’erina ekyapa kyalyo ekituufu.

Simon Kaboggoza omukungu w’ekitongole kino, agamba nti be balina ekyapa ekituufu noolwekyo omuntu omulala yenna agamba okuba n’ekyapa ekirala yeenoonyeza bibye.

Bino byayongedde okukkaatirizibwa abadde Ssentebe wa Buganda Land Board, Kiwalabye Male mu bbaluwa gye yawandiikira omumyuka w’omuwandiisi wa Pulezidenti ow’ekyama nga Feb,18, n’amutegeeza nti ettaka lino lya Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ng’omuntu era lya mayiro noolwekyo omuntu omulala yenna alikaayanira aba mukumpanya.

Mu bbaluwa eno, Kiwalabye agamba nti mu mwaka 1923, ettaka lino lyali lyawandiisibwa mu mannya ga Kitunzi ow’e Gomba nti kyokka oluvannyuma lyakyusibwa ne lidda mu Uganda Land Commission gye libadde likuumirwa okutuusa Obwakabaka bwe bwaddawo era lye limu ku lyaddizibwa Kabaka.

Mu bbaluwa eno era Kiwalabye asambajja eby’Omulangira Namugala okuba n’obuyinza ku ttaka lino n’agamba nti bikyamu era talirinaako kiwandiiko kyonna.

Ebbaluwa eno Kiwalabye yagitaddeko koppi y’ekyapa ky’ettaka lino era n’agiwaako n’Omulangira Namugala kennyini, ssaako Dayirekita wa KCCA, Dayirekita w’eddwaaliro lya Kiruddu, ne Dayirekita avunaanyizibwa ku byobulamu n’obutonde mu kitongole kya KCCA.

 

OMULANGIRA NAMUGALA AYANUKUDDE KIWALABYE

Oluvannyuma lw’okufuna ebbaluwa eno, Omulangira Namugala yalagidde balooya be aba Kaggwa& Kaggwa Advocates ne baanukula Kiwalabye Male.

Mu bbaluwa gye baawandikidde Kiwalabye nga Feb,20, 2019 baalaze nti ettaka lino lya bwannannyini era nga lyaali lya Ssekabaka Daudi Chwa II ng’omuntu, bwe yakisa omukono ne lisigala nga liddukanyizibwa “Estate of the late Sir Daudi Chwa II Properties”, nga lirabirirwa omusika we.

Balooya b’omulangira Namugala baakisimbyeko amannyo mu bbaluwa eno nti okuggyako ng’ettaka Kiwalabye ly’ayogerako lirina engeri gye lyakyusibwamu ne lizzibwa mu mannya g’omuntu omulala, naye omuntu waabwe (Omulangira Namugala) akimanyi bulungi nti y’akyalirinako obuvunanyizibwa nga omusika wa Ssekabaka Daudi Chwa II aliwo kati.

Mu bbaluwa endala gye twalabyeko eyasooka okuwandiikibwa Omulangira Namugala nga January 18,2018 era yali atangaaza ku bwannanyini bw’ettaka lino.

Namugala yali awandiikira ekitongole ky’ettaka ekyateekebwawo Pulezidenti mu maka g’obwapulezidenti ng’akitegeeza nti ettaka lino eriri ku bbulooka 255 poloti 45 lya bwansikirano obwa Ssekabaka Daudi Chwa II. nga mu kiseera kino y’alirabirira.

Mu bbaluwa eno, Namugala agamba nti aba Buganda Land Board baba babuzaabuza gavumenti ku kintu kye bamanyidde ddala nti kye kituufu ku bwannannyini bw’ettaka lino.

OMUGENZI NKANGI YAFA ALIKO BY’ATANGAAZIZZA KU TTAKA LINO

Eyali Katikkiro wa Buganda okumala emyaka 30, omugenzi Jehoash Mayanja Nkangi we yafiira yaleka aliko ebbaluwa gy’awandiise ng’atangaaza ku bwannannyini ku ttaka lino.

Nkangi eyali Ssentebe wa Uganda Land Commission mu 2009, mu bbaluwa gye yawandiikira Omulamuzi N.D.A Batema nga November, 10, 2009 okumutangaaza ku ttaka lino yategeeza nti ettaka lino eryogerwako e Salaama Munyonyo lya nsikirano mu Buganda era lya nju ya Ssekabaka Daudi Chwa II.

Mu bbaluwa eno Nkangi yategeeza nti oluvannyuma lwa Ssebakaba Daudi Chwa II okukisa omukono, Omusika we Omulangira Mawanda Chwa ye yasigala alirabirira naye bwe yazaama olwo mutabaniwe, Omulangira Namugala n’asigala nga y’alirabirira.

EVUDDEYO OMUNTU OMULALA ALIKAAYANIRA

Olutalo lwa BLB n’Omulangira Namugala lubadde lukyayinda, ate n’evaayo omuntu omulala alikaayanira nga ye yeeyita wa kibanja ekyamuweebwa aba Buganda Land Board. Stephen Lwanga omutuuze

we Salaama Munyonyo agamba nti naye ettaka lino alirinako obwannannyini bw’ekibanja era alumirizza aba Buganda Land Board okuba nga bamumanyi bulungi nga baalimuwaako liizi y’oweekibanja.

 

LWANGA BY’ANNYONYOLA

Bwe nagula ekibanja kino okuva ku mulangira Richard Nakibinge, nadduka za mbwa ne ntuukirira abakulu mu Buganda Land Board era ne banzikiriza okwegula mu nkola eno eriwo eya “Kyapa mu ngalo”.

Natandika okubigobako ne nsasula emisoso gyonna egyansabibwa bwe nagimalaayo ne bampa satifiketi eraga nti ndi mutuuze mutuufu ku ttaka ly’Obwakabaka bwa Buganda.

Mu bbanga lino lyonna mbadde sifunangako kutaataaganyizibwa kwonna wabula okuva abakulu mu kitongole ky’amazzi lwe baalambula ne basonga ku kifo ekyo nti we watuufu okuzimbawo ekkuhhanyizo lya kazambi omutawaana ne gutandika.

Natuukirirwa abakulu bangiokuva mu Buganda Land Board nga baagala ntuule nabo mbabuulire ssente ze njagala bazinzirize, naye nze njagala kimu kuteesa na bakungu ba Minisitule bennyini abakwatibwako ensonga eno.

Ensonga za Lwanga nga oweekibanja tezandibaddeko buzibu ssinga kikakasibwa nti Buganda Land Board y’evunaanyizibwa ku ttaka lino.

ETTAKA LITEEKEDDWAKO KAVITI

Oluvannyuma lw’okulaba engeri ebintu by’ettaka lino gye bitambulamu nga tagyekakasa, Lwanga ettaka yasazeewo okuliteekako kaviti okutangira omuntu yenna okulikolerako ekintu kyonna.

Lwanga agamba nti yawaliriziddwa okussa kaviti ku ttaka lino oluvannyuma  lw’okukitegeera nti waabaddewo enteekateeka ezigenda mu maaso gavumenti okusasula Buganda Land Board ensimbi mu ttaka lino. Kaviti

Lwanga yagifunye ku ntandikwa y’omwezi gwa May.

LWANGA YAWONYE OKUGAJAMBULWA POLIISI KU TTAKA

Gye buvuddeko Lwanga yawonedde watono okukubwa abaserikale ba poliisi bwe yabadde egezaako okutaayiza Minisita omubeezi owa Kampala, Penny Bugembe Namugwanya ng’ayagala okumunnyonnyola ensonga ze.

Lwanga okuzinda Minisita Namugwanya yabadde agenze okulambula ettaka lino ng’ali wamu n’abakungu ba Buganda Land Board, abakulira eddwaaliro lya Kiruddu n’abakungu okuva mu kitongole ky’amazzi abalina okusima ekinnya kya kazambi.

MINISITA NAMUGWANYA BY’AGAMBA

Bwe yabuuziddwa ku nsonga eno, yagambye nti gavumenti nga tennakwata nsimbi za muwi wa musolo kuziwa muntu yenna erina okusooka okukola okunoonyereza okumala ezuule nnannyini ttaka lino omutuufu gw’erina okukolagana naye.

Yagambye nti aba Buganda Land Board baliko ebiwandiiko bye baamulaze nga biraga obwannannyini ku ttaka lino kyokka n’asaba n’abo abalala abagamba nti be bannannyini okumutwalira bwiino waabwe.

Wabula Namugwanya yalabudde abatuuze obutakozesebwa Bannabyabufuzi abali ku ludda oluvuganya abaagala okulemesa buli nteekateeka ya gavumemnti basobole okugikyayisa mu bantu nga bagiraga ng’etefa ku nsonga ziruma bantu.

SSENTEBE W’EKITUNDU BY’AGAMBA

Ssaalongo Haruna Ssempereza, ssentebe w’ekitundu kino yategeezezza nti ettaka eryogerwako erya yiika ebbiri n’ekitundu akimanyi nti Lwanga aliriko ng’owekibanja okuva mu 2017 lwe yagulawo. Ssempereza yagambye nti ekisinga okubobbya abatuuze mu kitundu kye omutwe mu kiseera kino, kwe kubeera nti ekyapa ekyogera ku ttaka lino lyonna kiri ku yiika 14 nti noolwekyo balina obweraliikirivu nti nalyo lyandirugenda mu ngeri y’amankwetu.

 

OMUPUNTA W’ETTAKA LYA CHWA BY’AGAMBA

Mu lukiiko lw’ekyalo olwetabiddwaamu RCC wa Makindye, Ibrahim Kagorora, omupunta w’ettaka lya Estate ya Chwa Emmanuel Gabula yategeezeza nti ettaka lyonna eriri ku buloka 255,256 ne 257 lya Ssekabaka Daudi Chwa II ng’omuntu era lya mailo ey’obwannanyini.

Gabula yalaze RCC Kagorora n’abatuuze ebiwandiiko bye yagambye nti bino aba famire ya Chwa ng’omuntu kwe basinziira okuba n’obwannanyini obutuufu ku lyo.

Okusinziira ku Gabula, ettaka eryogerwako liri ku bbulooka 255, 256, 267 nga lyali lya Ssekabaka Daudi Cwa II ng’omuntu ate bwe yafa mutabaniwe, Omulangira Mawanda eyamusikira n’afuuka alirabirira ku lwa famire okutuusa naye lwe yafa olwo Omulangira Namugala omusikawe n’asigala nga y’alirinako obuyinza.

Mu lukiiko luno, eyabadde kalabaalaba waalwo, Haruna Ntambaazi era nga ye webyokwerinda mu kitundu yayitiddeyitidde mu batuuze mu bimu ku biwandiiko ebikwata ku ttaka lino bye yagambye nti babifunye okuva mu nsonda ez’esigika nga biraga obwannannyini bwaalyo nga bwa Ssekabaka Daudi Chwa.

Ntambaazi aliko ekyapa kye yalaze abatuuze n’abategeeza nti ky’ekyo aba BLB kye baawaayo eri gavumenti ne KCCA nga baagala basasulwe mu ttaka eryo okusobola okuzimbawo ekinnya kya kazambi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup