TOP

Eyafuumuulwa bba olw’okuzaala bannamagoye afunye ebya Paasika

By Musasi Wa

Added 6th April 2015

OMUKYALA eyazaala bannamagoye abana bba n’amugoba, kata afe essanyu, Abakrisitaayo ba St Mark’s Church Namate esangibwa e Ntebe bwe bamutonedde ebintu ayite mu Paasika nga musayufu.

2015 4largeimg206 apr 2015 100952487 703x422

 Bya RUTH FAITH NAKANWAGI

OMUKYALA eyazaala bannamagoye abana bba n’amugoba, kata afe essanyu, Abakrisitaayo ba St Mark’s Church Namate esangibwa e Ntebe bwe bamutonedde ebintu ayite mu Paasika nga musayufu.

Faridah Nantumbwe, omutuuze w’e Kyengera Mugongo ye yaweereddwa ebintu okuli; bulangiti, amasuuka, obugoye bw’abaana, sooda, sukaali n’emitwalo 50.

Mukyala Rhoda Banda Kizza akulira ekitongole ekibuulizi ky’enjiri mu kkanisa eno, yagambye nti bwe yalaba omukyala ono mu mawulire nga bba amugobye olw’okuzaala bannamagoye, yakwatibwako wadde nga teyali wa mu kitundu kyabwe.

Yayogera n’Abakrisitaayo b’omu kkanisa ne basalawo okumudduukirira n’akatono ke baabadde nako.

Ye Nantumbwe agamba nti ewaabwe gye bamuzaala tawulirangako muntu azadde nnamagoye kyokka ekisinga okumuluma ye musajja okumugoba nti azadde bannamagoye ate ng’e Iganga gye yamusanga ne batandika omukwano, y’esibuka bannamagoye.

Ayongerako nti omusajja yamuganza akyasoma n’amuzaalamu omwana asooka nga nnamagoye, n’azzaako abalongo nga nabo bannamagoye n’omuto asembayo omuwala adda ku balongo naye nnamagoye ng’ono ye yaggya omusajja mu mbeera n’amugoba.

Agamba nti bwe yatuuka ewa kitaawe, olw’okuba omukazi eyali mu maka si ye yali amuzaala, yamugambirawo addeyo gy’ava n’abaana be n’abayita emisambwa era kw’olwo yasula ku muliraano. Enkeera kwe kunoonya mwannyina abeera e Kyengera n’amubuulira nga bwe bibadde era ono n’akkiriza okumubudamya.

“Abantu beenyinyala abaana bange oba oli awo nga bakomawo nga bakugamba ng’abazadde bwe babagobye nti tebazannya n’abaana baabwe naye nzizeemu ku maanyi Abakrisitaayo ba St. Mark okunziruukirira ekindaze nti waliyo abantu abakyalina emitima emirungi,” Nantumbwe bwe yategeezezza.

Omuwanika w’Ekkanisa eno, Norman Mugisa yeeyamye okusasulira omu ku bannamagoye ffiizi za ttaamu bbiri omwaka guno n’awera okufunira omukyala ono eky’okukola ave mu kusabiriza.

Ssaabadinkoni Canon Jonathan Ssaalongo Kisawuzi bw’abadde akulembeddemu okubuulira ku mukolo ogw’okudduukirira omukyala ono, akubirizza abantu okubeera n’emitima emisaasizi nga Yesu bwe yasalawo okusaasira n’atufiirira nga talina muntu yenna gw’asosodde mu ndabika.

Eyafuulwa bba olw’okuzaala bannamagoye afunye ebya Paasika

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb1 220x290

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde...

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde 15

Gab1 220x290

Omutaka Gabunga awummuzza basajja...

Omutaka Gabunga awummuzza basajja be

Pip1 220x290

Aba People Power bongedde okwenyweza...

Aba People Power bongedde okwenyweza

Lat1 220x290

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu...

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu eggere

Ch16 220x290

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana...

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana ne Evans