TOP

Maama ekiragiro kye yandekera ne kaakati kwe ntambulira

By Musasi Wa

Added 10th May 2015

OMUGENZI Pascazia Mukakumbe yafa emyaka 14 egiyise naye ne gye buli kati akomawo eri mutabani we ng’amulagira okukuuma enkolagana n’okukumaakuma baganda be era amutuuza nga bwe yakikolanga mu bulamu n’amubuulirira.

2015 5largeimg210 may 2015 103024080 703x422

BYA ALI KIZZA

OMUGENZI Pascazia Mukakumbe yafa emyaka 14 egiyise naye ne gye buli kati akomawo eri mutabani we ng’amulagira okukuuma enkolagana n’okukumaakuma baganda be era amutuuza nga bwe yakikolanga mu bulamu n’amubuulirira.

Amos Kizito mutabani w’omugenzi omukulu okufa kwa nnyina kwamuleka mu kifo ky’obuvunaanyizibwa okuba nga y’alina okukuuma baganda be nga bali bumu era nga ye bwe buddukiro bwabwe ku nsonga ezitali zimu. Kizito emboozi ku nnyina aginyumya ng’ayogera ku muntu akyali omulamu:

“Maama yabeeranga ku kyalo Nkuke mu disitulikiti y’e Masaka. Yali mukyala mulimi nga mulunzi ate nga musuubuzi wa bisolo, yali mutetenkanya ng’akola emirimu mingi kuba yatukuza bwomu oluvannyuma lwa kitaffe okufa nga tuli bato.

Nze mwana omukulu mu baana omukaaga mu maama kale taata we yafiira nali ntegeera obutafaanana bato bange abaali bakyali amabujje.  Maama yakola nnyo okulaba nga tatujuza.

OBULWADDE BULUMBA MAAMA

Okulwala kwe kwatandika mu 2009 nga lubuto lwe lwasooka okumuluma, naye ng’akozesa eddagala ly’ekinnansi olwo ne lukkakkana.    

Waayita ebbanga ttono olubuto ne lwegattako okulumwa amagulu era nga takyasobola kukola mirimu gyetaaga kuyimirira nnyo.

Ku magulu ate kwegattako ekizibu ky’okuwulira ebbugumu buli kiseera nga ne bwe buba budde bunnyogovu awulira ebbugumu. Olubuto lwagenda mu maaso n’okumuluma mwannyinaze gwe yabeeranga naye kwe kumutwalako mu kiriniki mu kyalo n’afuna ku bujjanjabi bw’empeke.

Teyafuna njawulo wabula lwataama butaami kwe kukwatagana ng’abaana ne tumutwala mu ddwaaliro e Kitovu ne bamukebera omusaayi n’ebirala era n’aweebwa eddagala eryamukkakanyaamu okumala emyezi ebiri.

Eddagala lino bwe lyaggwaawo abasawo e Kitovu baatuwandikira ebbaluwa nga batusindika Mulago oluvannyuma lw’okututegeeza nti obulwadde baali babulemeddwa nga bujulidde ddwaaliro eribasingako.

Mwannyinaze Annet Nante yamuggya mu kyalo n’amutwala e Mulago. Abasawo bwe baamukebera ne batutegeeza nti yali alina kkansa. Baatutegeeza nti yalina kkansa w’oku nnabaana era we yali atuuse yali amaze okukwata ekibumba n’ensigo.

E Mulago twamalayo ennaku ttaano ne bamusiibula nga batuwadde eddagala wabula ne batulagira okumuzzaayo buli luvannyuma lwa wiiki emu. Eddagala lyamuyambako kitono ddala kuba lyagenda okuggwaawo nga n’embeera yeeyongedde okwonooneka.

Bwe twamuzzaayo ng’eddagala liweddewo abasawo baatutegeeza nti tebakyalina kye basobola kukola kuba obujjanjabi obwabwe bwali buweddeyo ng’ekisigalidde kumutwala bweru wa ggwanga okusobola okuwadaawadako naye ng’ekituufu kkansa yali atuuse ku mutendera ogusembayo nga ky’asigalidde kufa.

Maama tetwamuzza mu kyalo wabula twamuteeka wa mwannyinaze Nante e Nateete eyamulabirira okutuuka ku ssaawa esembayo. Yamujjanjabira wiiki ssatu n’afa era yankutukira mu ngalo anti okuva lwe yava mu kyalo saddamu kusula wange nasula nga nnyamba mwannyinaze okumujjanjaba.

Yafa nga June 3, 2001 ku ssaawa 11:00 nga busaasaana era yanfiira mu ngalo. Twagenda e Masaka enkeera era ne tuziika ku kyalo Nkuke ng’eno twamalayo wiiki nnamba nga tukuma olumbe oluvannyuma ne tudda e Kampala buli omu n’adda ewuwe.

 

Maama andoosa

 

Waayita omwezi gumu nga tumaze okuziika nali nneebase ewange ne mmuloota omulundi ogwasooka, yajja ng’ayambadde boodingi ya bimuli ne nniigina emmyuufu. Mu kirooto kino nali mu kyalo awaka we twamuziika nga ntudde ku lubalaza.

   Yava mu ffumbiro n’ajja we nali ntudde n’atuula okunninaana. Kye yava ampita nti, ‘Mutabani Kizito’ ne mpitaba yambuuza, ‘Bannyoko omaze bbanga ki nga togenda kubalabako?’, Teyakoma kw’ekyo yahhamba omu kw’omu okutuusa bwe yabamalayo era n’andagira nti njagala ogende olambule banno bonna.

   Yantegeeza nti, ‘Olina okukumaakuma banno kuba ggwe mukulu waabwe ate ne kitammwe yafa kale tobasuulirira. Bwe yamala okuhhamba ebyo ku bato bange n’ambuuza ne bassenga nti ‘gundi omulambula?’ Mu butuufu bonna be yambuuza nali mmaze ebbanga nga sibalambula.

   Yali akyambuuza abalala we nasisimukira era ssaddamu kufuna tulo. Nakeera ku makya ne nkwata takisi yange gye nkolamu kwe kugenda ne nnambula abantu bonna maama be yahhamba era olunaku olwo nakolako kitundu.

   Okuva lwe yajja sisobola kumala mwezi nga siwulizza baganda bange bwe bali kababeere abehhanda abalala naddala be yasimbako essira nneme kubasuulirira. Era okuva lwe natandika okukola kino taddangamu kundoosa.

 

Maama ekiragiro kye yandekera ne kaakati kwe ntambulira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkeesiwebusebig 220x290

Omugaso gw’okutegeka obulungi omudaala...

Entegeka y'omudaala gwo y'esalawo bakasitoma n'e ssente by'ofuna olunaku

Ashimu2webuse 220x290

Mu kukuba bbandi mwe nfuna ebisale...

Ekitone kyange kinnyambye okutuuka we nnali sisuubira mu kusoma n'okutambula mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo...

Akellofixingacarengineafterassemblingitwebuse 220x290

Omuwala akanika yingini za mmotoka...

Ono omuwala tazannya, akanika yingini ya mmotoka n'aleka kasitoma ng'amunyeenyeza mutwe. Okukanika yakuyigira ku...

Kyeyo 220x290

Abagenda ku kyeyo 54 bakwatiddwa...

MINISITULE y’ensonga z’omunda eraze Bannayuganda 54 abaakwatiddwa ku kisaawe kya Kenyatta International Airport...

Okukyala kw’ennaku zino engeri...

Ennaku zino okukyala kukyuse nnyo ng’omusajja bw’aba teyeenywezezza kuyinza okumulema.