TOP

Mukyala wange yatemulwa ne mmuziika nga sibuulidde beewaabwe

By Musasi Wa

Added 18th May 2015

BULI lwe nteeka omutwe wansi nneebake ku buliri ekisooka okunzijira ye mukyala wange eyatemulwa ng’antuma hhende ewaabwe mbabikire nti yafa. Kino okusooka kyajja nga kirowoozo nga nneewuunaganya engeri gye mbatuukako kyokka oluvannyuma yatandika okundoosa nga mpawamuka ne mba nga gw’akulembeddemu

2015 5largeimg218 may 2015 083042247 703x422

 BYA SARAH ZAWEDDE

BULI  lwe nteeka omutwe wansi nneebake ku buliri ekisooka okunzijira ye mukyala wange eyatemulwa ng’antuma hhende ewaabwe mbabikire nti yafa. Kino okusooka kyajja nga kirowoozo nga nneewuunaganya engeri gye mbatuukako kyokka oluvannyuma yatandika okundoosa nga  mpawamuka ne mba nga gw’akulembeddemu  okugenda ewaabwe.

Wabula nkyalemeddwa okukituukiriza kuba ewaabwe wala anti namuggya Rwanda. Nnyina Nkayitesi ne ssengaawe be baamunkwasa. 

Ekirala sirina ssente za ntambula okusobola okutuukayo kuba kino kyangwako mu bwangu  ate ne ndwala olwo ne mba nga sikyesobola bulungi  mu kukola ssente.

Bino bye bimu ku bigambo ebyasigala ku mumwa gwa Maliseeri Ndayambaze, omutuuze ku kyalo Kigo mu muluka Musa mu ggombolola y’e Buwama e Mpigi bw’aba ayogera ku mukyala we, omugenzi Josephine Mukamisha (38), eyatemulwa olw’enkaayana z’ettaka ku kyalo. 

ENGERI GYE YATTIBWAMU

Mukyala wange yattibwa mu ngeri ey’entiisa n’omu ku baana baffe Gerald Karengera (2) omwaka oguwedde.

Okufa kwe kwava ku mpalana  z’ekibanja ezaaliwo n’abavubuka baliraanwa. Zino zaali zirudde kuva mu 2006 ng’abantu bano baagala okutwala ku kibanja kyaffe. Omukyala abadde akirwanirira era ndowooza kwe baava bamuggyewo. Omwaka oguwedde nga November 4, baabasanga balya kyaggulo ne babatemaatema ebiso ne babatta.

Ekiro lwe baabatta, nasooka kusisinkana abavubuka bano  ku luguudo kyokka tebannyega. Mu kiseera kino balabika baalina ebissi ne bakkirira mu maka gange kye saamanya. 

Abavubuka bano emisana baali bayombyeko ne mukyala wange era ne bamulabula nti enku z’atwala okufumbisa emmere ayinza obutagiryako.

Abaana abaasimattuka ekibambulira kino bantegeeza nti, “ Abavubuka bano bwe baatuuka ewange ne bakonkona ne babuuza mukyala wange oba mwendi mu nnyumba. Yabategeeza nga bwe siriiwo kyokka ne bamusaba aggulewo bamukwase ebintu bye bamuleetedde.

Bwe yeerema  kwe kusamba oluggi ne lugwamu. Baatandikirawo okumusanjaga ebiso era omulambo gwe nagusanga gugudde mu mulyango.

Okumanya abasajja bano baalina ettima, baatemaatema  omwana waffe omuto n’agwa ku lujjuliro ng’omukono gwawandagala ne gusigala mu ssowaani mwe yali akoza. 

Abaana abaawona okuttibwa bagamba beekukuma wansi mu kitanda. Abavubuka bano baalina tooci ku ssimu ze baali bakozesa era bwe baaziteekako ekitangaala kyabakubamu  abaana ne babeetegereza.

Ku luguudo nali nduddeyo nga nninze miti gy’ebibala egyali gigabiddwa era najja nkikiitana  nagyo. hhenda okutuuka awaka nga ku mirambo kwe nkuba amaaso ne nkuba enduulu era mu bonna abadduukirira abavubuka bano baliraanwa tebaalabikako.  

Poliisi n’abatuuze baakola omuyiggo ne babasanga nga  beekukumye mu nnyumba yaabwe. Baakwatibwa era kati bali mu kkomera e Kigo.

OMUKYALA ADDA N’AMMANJA OKUBIKIRA ABEEWAABWE

Twali tumaze ne mukyala wange emyaka mwenda nga tuzadde abaana bana. Namuggya Rwanda gye nali hhenze okukuba ekyeyo era abehhanda ze baamunkwasa mu butongole olwo ne tujja ffenna ewaffe.

Tubaddewo bulungi ekiseera kyonna era nga twali mu nteekateeka z’okugenda okubakyalirako kuba twali tuludde okubawuliza.

Wabula buli lwe nneebaka andoosa  nninnye bbaasi hhende ewaabwe mbiike nti yafa. Nteebereza engeri gye mbatuukirira okubabikira nga nakyo kintiisa kuba eggwanga lyabwe si lya muzannyo nga bayinza nange okunzita.

Ebirowoozo bino  bimmazzeemu amaanyi kuba sikyasobola kukola kintu kyonna n’abaana baffe tebakyasoma. 

Ekizibu kye nnina bwe bulwadde bwa asima obuntawaanya  nga bunnemesa okugenda okulima kuba sisobola kukeera mu mpewo. Bino byonna mukyala  wange ye yali abikolako.

Abaana baffe nabakwasa bahhanda kuba sikyalina muntu annyambako Wabula mu ngeri y’okuwummuza obwongo n’ebirowoozo buli lunaku nteekwa okunywa  ku mwenge era ebiseera ebisinga mikwano gyange be bangulira.

Lwe nfunyeeyo nga 500/- bigenda mu mwenge.  Lwe mba sinnywedde sifuna tulo era mba mu buliri nga nkaaba.

Wabula  simanyi ngeri gye nnaatuukirira abehhanda mbabikire nti  mukyala wange yafa.    

Okumanya ekikangabwa nafuna kya maanyi n’emiti gye nali ndeese kw’olwo abadduukirize baakuuliita nagyo. Mu nju nasiggalamu nzekka.

Mukyala wange yatemulwa ne mmuziika nga sibuulidde beewaabwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda