TOP

‘Omusajja gwe nazannya naye ebya laavu kati ye baze’

By Musasi Wa

Added 31st May 2015

Omukwano abamu baguggya mu masinzizo, abalala ku nguudo nga batambula, abamu baguggya ku nnyimbe abalala ku masomero n’abandi mu bivvulu. Kyokka ye Fauzia Nakiboneka yaguggya ku siteegi ng’azannya katemba, omusajja gwe yazannya naye ebya laavu bwe yafuukira ddala bba kati gw’agatokoseza (amatooke)

2015 5largeimg231 may 2015 101233480 703x422

Bya HAFSWA NaNKANJA

Omukwano abamu baguggya mu masinzizo, abalala ku nguudo nga batambula, abamu baguggya ku nnyimbe abalala ku masomero n’abandi mu bivvulu.  Kyokka ye Fauzia Nakiboneka yaguggya ku siteegi ng’azannya katemba, omusajja gwe yazannya naye ebya laavu bwe yafuukira ddala bba kati gw’agatokoseza (amatooke). 

Nakiboneka azannya nga Sarah, mukyala Henry mu OMG ku Bukedde ttivvi era anyumya engeri ebyali ebya katemba bwe byavaamu laavu eya ddala!

“Ndi muwala wa Haji ne Hajati Bbosa e Masajja Kibira Zooni nga nazaalibwa mu famire ya baana abasukka mu 10. Nassale nagimalirako Jinja ku Victoria Nursery ne Main Street P/S era eno gye nayigira okuyimba.

Mu 1992, nayingira siniya mu  Najjanankumbi Young Christian School era mu siniya esooka nali ntandise okuwandiika ennyimba  nga nnyimba ne mu kkwaaya  y’essomero.  

Nga ndi mu  S.2  natuukirira  abayimbi Mesach Ssemakula ne Geoffrey Lutaaya abaali bakoze ekibiina ekyali kiyitibwa Gibros nga baagala abawala abato abasobola okuyimba n’okuzannya emizannyo. Nabasaba okubeegattako ne banzikiriza era ne bajja eka ne basaba bazadde bange banzikirize. Natendekebwa wiiki bbiri zokka bazadde bange ne babingobamu nti nsooke mmalirize emisomo gyange. 

Siniya 5 ne 6 nazimalirako ku Aga khan High School. Twalina ebibiina by’okuyimba n’okuzannya emizannyo nga tusaba ku Pride Theatre ne ku Bat Valley okuzannyirayo ne tuggyamu ku kasente akatonotono. Ssente zino twazikozesanga okuyamba ku baana ba Sanyu Babies Home n’okuzimba enzizi z’abantu naddala mu bitundu by’e Makerere olwo  ke tufissaawo (bwe kabaawo) nga ke tugabanako. 


Fauzia Nakiboneka  lwe yatikkirwa.

Era mu  ssomero lye limu, nakolayo ekibiina kye natuuma Rhythm Creators nga nfuna ebivuga okuva mu nsi z’Abazungu ebyateekebwamu amaloboozi amaseeneekerevu nze ne njiiyizaamu ebigambo ebinyuvu ne tubiyimbira abantu era ne basiima. 

Namala emyaka esatu ku Kampala International University nga ndi ku misomo gy’ebyamawulire, kyokka  ekitone kyannyinga obuzito ne sifuna ku mukisa gukola  kye nasomerera ate nga nali nneesunga okugwako  ‘kkava‘ nga nkuba ebifaananyi n’okulabikirako ku mikutu egy’enjawulo nga nsomesa abantu”, bw’atyo  Nakiboneka Fauzia bw’alojja bye yasubwa bwe yasalawo okwemalira ku katemba. 

ASISINKANA BBA

Engeri gye yafunamu bba ng’amuggya ku siteegi nayo enyuma anti agirojja bwati:

“Mu 2010 nayanjula baze Ronnie Kasobya gwe nasisinkana mu kibiina kye kimu ekya Ebonies mu 2000 nga nazannya naye omuzannyo gwa Daisy.   


Fauzia Nakiboneka ne famire ye.

Twasooka kusisinkana Makerere nga nsoma katemba. We yajjira mu Ebonies  ekiseera ekyo Kasobya yali akyasoma ku yunivasite era yajja kuzannya nga dokita.  Oluvannyuma lw’omwaka ng’omuzannyo guweddeko, yaddayo mu misomo gye ng’omukwano gwaffe tegunnakwatayo bulungi.

Nga wayise ekiseera,  baamukomyawo okuzannya mu Star Trouble ng’omuvubuka ow’ensonyi.  Wano we twattukiza bye twali twakomya mu kkubo. Mu muzannyo nze nazannya ng’omuwala eyeegwanyiza omulenzi ono.    

Twatandika okuba ffenna okuva mu 2002 ne leero tuli ffenna. Mu mukwano gwaffe tulinamu ekirabo ky’omwana omuwala Shan Katana gwe nazaala mu 2003. Shan wa myaka 12 ng’ali mu P.7. 

Engeri gye nayingiramu Katemba

Nneeyagaliza nnyo ebirungi  era ne bwe mba sirina ssente zigula kintu kye nneegomba nkirwanirira. Olwatuula S.6 mu 1999,  olwokuba nneegombanga nnyo okubeerako mu kibina kya Ebonies nga ne mukulu wange gwe nabeeranga naye, Mariam Birungi yali abaagala nnyo, yanzisaamu ekyoyooyo ekibanoonya.

Nabalumba era mu be nasaangayo mwe mwali omugenzi Fred Kunya eyantwala n’atandika okugezesa eddoboozi lyange. Oluvanyuma yampa oluyimba nti hhende nduwulirize oluvannyuma nduyimbe mu ddoboozi lyange. 

Najjula essanyu kuba nali siyimbirangako mu situdiyo wadde okwewulirako mu mizindaalo nga nnyimba. Okugezesebwa nga nkumaze, natandika okwewuubanga ku situdiyo buli lunaku kyokka nga tebampita wadde okunkakasa oba nayita wabula nga buli ajja ampitako kkuutwe. 


Fauzia Nakiboneka ne bba Kasobya.

Lumu baali bakola oluyimba olunaazannya mu muzannyo “Ekitoobero’ ne bahhamba nti njiiyizeemu ebigambo ebinaanyuma. Nakoleramu ‘Rap’ (okutontomera okumu ebigambo) eyanyumira buli muntu eyaluwulirako.  Oluyimba olwaggwa Mw. John Katende n’abuuza nti muwala ki eyayimbye ‘Rap’ eyo? Yantumya era n’antegeeza nga bw’ayagala okuteeka oluyimba ku lutambi nti lubadde lunyuvu nnyo.  

Twalukola ne tuluwa erinya ‘Full of excitement’ olukola nga Anthem ya Ebonies.  Olunaku ekirooto kyange lwe kyatuukirira, Mw. Katende yahhamba nti nneeteeketeeke tugenda Munyonyo mu lusirika. (Mu lusirika tuba tugenze kukola muzannyo mupya ng’ogubaddeko guweddeko). Namusaba asooke e Namasuba ewa mukulu wange amale okunsabayo bw’atyo n’asindika Mw. Bbosa n’omugenzi Cissy Muwanga ne bansabayo mu butongole.

E Munyonyo bampa ekitundu kyange ekyasooka mu kugezesebwa ekyali eky’okuzannya ng’olaga omuntu bw’ayinza okukola singa omubbi aba amuyingiridde mu nju.  

Kino bwe kyaggwa ne bampa ekirala kyakuzannya nga nneekwanira omulenzi. Bwe nabimaliriza naddukirawo mu kasenge gye nali nsula ne ntandika okukulukusa amaziga nga ndaba binnemye era enkeera bwe baatuyita nze nagaana okugenda ne mbalimba nti omutwe gunnuma so nga ntidde kumbikira nti sirina kye nsobola.

Waayita ennaku bbiri zokka nga tukyali mu lusirika ne bampa ekitundu kyange ekyasooka ku siteegi nga kyali kya kuzannya nga muninkini  wa Mw. Bbosa mu muzannyo ‘The Boss’, okuva olwo, siddanga mabega ne gye buli eno.

Bye nfunye mu Katemba 

Ekisooka, Katemba mmufunamu ssente era ndya ku kitone. Wadde nga saasobola kutuukiriza kirooto kya kusomesa bantu nga mpita mu mawulire ge nasoma, naye nkikola nga mpita mu katemba ate nga basanyuka ate nga bwe bayiga ensi bw’etambula.

Nfunyeemu ebirabo n’ettutumu erinnyambye okunnyanguyiza buli we hhenda. Katemba anjigirizza engeri y’okukolaganamu n’abantu ab’enjawulo. 

Ettutumu liyinza okukuwaganyaza so bw’olikozesa obulungi likuzimba n’ekitalekeka, katemba namufunamu omwami wadde nga kati ye yabinnyuka akola bibye.

Ebizibu bye musanzeemu

Sirina bwannannyini ku bulamu bwange. Buli w’otuuka bakulingiriza. Obudde bwa famire buzibuwala era n’emikwano egimu gikwesalako mu butali bugenderevu lwa nsonga nti toba na budde bwe mwalinanga.

Abantu abasinga balowooza nti bye tuzannya bye tuli ne mu bulamu bwaffe okugeza nze banjagazaako Mw. Bbosa so nga bambi bikoma mu muzannyo. 

Ebiseera byange eby’eddembe mbimala ne famire yange kuba nnyumirwa nnyo okubeera nabo nange ne nfumbako ng’omukyala mu maka.

Gye yeeraba mu myaka 5 

Saagala  bintu binteeka ku bunkenke. Nsaba Katonda ampe ssente ezimmala obumazi okwetuusako buli kye njagala n’abantu bange so si ez’okummalako emirembe. Njagala kukaddiyira mu Katemba kuba ffe abakuze ate bwe tuvaamu olwo b’ani abanaazannya ebitundu by’abakadde? 

Njagala  okukola ekibiina ekirabirira abaana abatalina mwasirizi mbasomese n’okubawa ebintu ebirala mu bulamu bwabwe kuba nabo babeera beetaaga okufuna ku sanyu nga bakyali ku nsi.


Fauzia Nakiboneka ng’akyasoma. Ku ddyo, Fauzia Nakiboneka mu musono . 

Omwami by’amwogerako

Bba, Ronnie Kasobya yagambye nti: Twasisinkana ne Fauzia Mu 1999 ku yunivasite e Makerere. Fauzia yali azze kusoma bya katemba nga nze nkola BA Social Sciences. Wano we namulabira ne mmwegomba. Namutegeeza bwe mpulira kyokka n’asooka antambuzaako emyezi nga ena.

Oluvannyuma Fauzia ebya katemba yabiddukamu n’adda ku KIU okusoma ebyamawulire.

Olw’ensonga nti yaleka tampadde kituufu, amaanyi  ganzigwamu nga nsuubira tetuliddamu kulabagana.

Nga bwe kiri nti Katonda ky’abeera agasse teri ayinza kukigattulula, nange mu mwaka gwe gumu laba Mw. Bagenda bw’ajja n’ansaba okuzannya nga dokita omutendeke  mu muzannyo Daisy.

Fauzia eyali yayingira edda Ebonies ye baamuwa ekitundu kya muwala omubanda avuga ddigi, bwe twaddamu okusisinkana ne mbittukiza bupya.

Mu 2000 twazannya omuzannyo Star Trouble,  Fauzia mwe yazannyira ng’omuwala eyeegwanyiza omulenzi kyokka omulenzi oyo nga ye nze.  Wano nakuba gudiikudde anti kye nali nayagaliza edda embazzi bakama bange baali bamaze okusuula.

Twazannya nga bwe mmukuba kalyonso nti olaba bwe kimenya okwegwanyiza omuntu atakufaako?    

Omuzannyo we gwaggweerako nga tufuuse omuntu omu era mu 2003 twafuna ezzadde lya muwala waffe Shan Katana.

Nva mu katemba:

Ekiseera kyayitawo kitono nga tumaze okukwatagana nze katemba ne mmuvaamu lwa nsonga nti nalina ebintu bingi bye nali nneetaaga okukolako kyokka nga katemba atwala obudde bungi. Mba kusigalamu sandisobodde kubikwataganya bulungi.

Eky’okuba nti Fauzia azannya ebitundu by’omukwano n’abasajja abalala tekirina we kinkoseza era sikifaako kuba ekintu nakirimu nkimanyi bulungi nti guba muzannyo  nga byonna bikoma ku siteegi.

Ekirala Mukyala wange ateeka famire ye ku mwanjo n’okugiwa ekitiibwa nga sisuubira nti ate ayinza okukola ekintu ekimuyiwayo.

‘Omusajja gwe nazannya naye ebya laavu kati ye baze’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Stabua2 220x290

Mbalinze nkya ku Obligatto- Stabua...

Stabua Natooro akoowodde abantu okweyiwa mu konsati enkya ku Club Obligatto

Namaalwa1 220x290

Omukungu agobye ffamire ye mu muka...

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Magogo1 220x290

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda...

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda...

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ddala kituufu omuyimbi Haruna Mubiru awasa balinawo?

Rolex0 220x290

Ab'e Jinja beesunga kivvulu kya...

Omanyi ekivvulu kino kye kimu ku bisinga okukwatayo mu ggwanga wabula 'Abeyidinda' baludde nga beemulugunya lwaki...