TOP

Baze olwafa, nange amaaso ne gaziba

By Musasi Wa

Added 7th June 2015

NEWANKUBADDE nnamwandu Maliza Nakayiza amaaso gaaziba, kino tekimuleetera nnyiike ya buli kiseera. Agamba afuna essanyu buli lw’aloota bba anti mu kirooto asobola okulaba munne era ne banyumya, obwamuzibe ne budda ng’azuukuse.

2015 6largeimg207 jun 2015 115043810 703x422

Bya ALI KIZZA

NEWANKUBADDE nnamwandu Maliza Nakayiza amaaso gaaziba, kino tekimuleetera nnyiike ya buli kiseera. Agamba afuna essanyu buli lw’aloota bba anti mu kirooto asobola okulaba munne era ne banyumya, obwamuzibe ne budda ng’azuukuse.

Nakayiza byonna abinyumya bwati: Baze omugenzi Yekosefaati Kizito bwe twawangaala okutuusa Mukama bwe yamutwala.    

Twasisinkana ne baze omwaka gwe sijjukira wabula nga gwali ku mulembe gwa Ssekabaka Edward Muteesa owookubiri. Ssehhange ye yanfunira omwami ono nga ndi muto ng’omwami wa myaka 30 n’antwala kuba ye yali enkola mu kiseera, ekyo. 

Eby’edda tebyabeerangako kwesiimira wabula omukisa gwe nafuna munnange namusiimirawo kuba yali musajja mulungi era nagenda mu bufumbo n’essanyu.

Baatugatta mu bufumbo obutukuvu ku Lutikko e Namirembe era we twasembereza abagenyi baffe ku mukolo ogwali amakula anti twagabula abantu obugaati n’ebyokunywa era awo wenakulira kuba nali mmaze okufuuka mukyala Kizito.

Twabeeranga ku kyalo Degeya e Bombo era obufumbo bwange nabunyumirwa ekiseera kye nnamala ne baze. Omukisa gwe nafuna nze nali omukyala omukulu nga gwe bayita Kaddulubaale era olw’esonga eyo bannange bonna bwe twafumba nga bampanga ekitiibwa.

Twali balimi era balunzi nga baze ebiseera bye ebisinga abimala akola mirimu egyo egy’okulima era tetwajulanga kintu kyonna nga tubeera mu ssanyu ebbanga lyonna. Munnange yayagalanga nnyo okulya kyetutumula era nga tumulima mu bungi awaka.

Baze Mukama amuyita

Twazaala abaana munaana, abana, Mukama yabayita kati waasigalawo bana. Baze teyalwalako wabula yafa kikutuko, kino kyannuma nnyo kuba waakiri yandirwadde ne mmujjanjaba naye okuba nga sirina kyenakolawo munnange n’ahhendako bugenzi kyankola bubi nnyo.

Lwe yafa bwali budde bw’akawungeezi ku ssaawa 11:00 bwe yali akkirira ku kiraalo okuliisa ente.  Yagwa wansi omulundi gumu tewali amanyi kyamutuukako. Abaana baagenda okumutuukako okumuyolayoola okumuddusa mu ddwaaliro nga yafudde dda.

Enkeera, twamuziika ku kiggya ekyali okumpi n’amaka gaffe e Bombo. Twakuma olumbe oluvannyuma lw’emyezi ebiri ne ntandika okubeera mu bulamu obw’omu bwe nali simanyidde.

Katonda kuno yangattirako okunziba amaaso, obulwadde bw’omusujja bwankwata nga bulijjo abantu bwe balwala,  amatu ge gaasooka okunjabulira ne mba nga sikyawulira bulungi. Amatu gaagobererwa amaaso nga nago gaatandikiriza mpola okuggyako ekifu  hhenda okulaba nga sikyalaba bulungi okutuusa amaaso bwe gaazibira ddala.

Muwala wange anzijjanjabye naye amaaso gagaanidde ddala era kati nasigalira kusaba Katonda bw’aliba asobodde alinnyamba naye sikyalina ssuubi lya kuddamu kulaba.

Olunaku olukyasinze okunzizaamu ku maanyi okuva lwe naziba amaaso lwerwo lwe nasooka okuloota baze, nasanyuka kuba mu kirooto nasobola okumulaba newankubadde sisobola kulaba mu bulamu bwa bulijjo.

Baze yanzijira nga tuli mu kyalo e Bombo, yali ayambadde essaati ye enjeru ng’akubye ekikalu bulungi yasembera wendi n’ansaasira nti, ‘Mukyala wange nga walaba okuziba amaaso’. Bino yabyogera nga mmulaba bulungi era olwamala n’ambuuza nti,  ‘Okyalya ku kyetutumula?’.

Namulaba nga yenna ajjudde ennyiike bwe namugamba nti okuva lwe yagenda siddangamu kulya ku kyetutumula, yakwatibwa ennaku kuba eno y’emmere gye yali asinga okwagala era nga buli lwe nfumba tabula ku lujjuliro.

Yansaasira okuziba amaaso omulundi omulala wabula n’ahhamba mbeere mugumu Katonda ali wamu nange. Kino kimpadde essuubi era hhamba osanga luliba olwo ndisobola okuyambibwa ne nziramu okulaba mu ngeri yonna esoboka.

 

Baze olwafa, nange amaaso ne gaziba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Starleaguenov162019kccabtvipers10kizzaandwilla2 220x290

KCCA FC ekubye Vipers awaluma

KCCA FC emezze Vipers SC egikyalidde e Lugogo ku kisaawe kya Star Times ku ggoolo 1-0 ng’eteebeddwa Mike Mutyaba...

Buza 220x290

Omusajja omukodo abuza omuliro...

TEWALI kintamizza basajja nga bukodo. Balinga abatamanyi nti omukyala yenna aweebwa kubanga kibi nnyo okukama ente...

Wuga 220x290

Omulwadde wa siriimu asobola okuzaala?...

NDI mukyala ayagala waakiri okuzaalayo omwana omu kubanga nnina siriimu. Naye ssenga, kandida annuma naye neebuuza...

Jino 220x290

Ow’emyaka 90 alumirizza ekkanisa...

NNAMUKADDE ow’emyaka 90 alumirizza ab’ekkanisa ya Uganda okumutundira mu ttaka ly’abaddeko emyaka egisoba mu 60....

Linda 220x290

Stecia awadde Julie obukwakkulizo...

ABAYIMBI n’abasuubuzi bongedde ebbugumu mu nteekateeka y’emikolo gy’okwanjula kwa Julie Ssemugga egisuubirwa okubeerawo...