TOP

Munnayuganda eyagenze okugezza akabina afiiriddeyo

By Musasi Wa

Added 17th August 2015

MUNNAYUGANDA asasudde obukadde bw’ensimbi obusoba mu 28, agezze akabina afune essanyu afudde tannalifuna!

2015 8largeimg217 aug 2015 092414777 703x422

 BUNGEREZA, lwamukaaga

MUNNAYUGANDA asasudde  obukadde bw’ensimbi  obusoba mu 28, agezze akabina afune essanyu afudde  tannalifuna!

Jane Kizza enzaalwa ya Uganda kyokka ng’alina obutuuze e Bungereza yasazeewo okugezza akabina k’aludde nga yeegomba oluvannyuma lwa mutabaniwe okumaliriza okusoma nga ky’asigalidde kusanyusa bulamu bwe ng’akola ebyo ebimunyumira.

Ku myaka 48 gy’abadde nagyo yasazeewo  okugenda mu ddwaaliro agezze akabina afune akaakazibwako  erya ‘Brazilian lift’, kyokka eby’embi  omubiri gwe ne gulumbibwa obuwuka, ekyamusse.

Ekika ky’akabina kano abakazi  abalabi ba firimu  naddala ez’Abamerika bakettannira nnyo kubanga abayimbi abatutumufu nga Jennifer Lopez ne Kim Kardashian bwe baakola era nga boogerwako ng’abasinga okubeera n’akabina akalungi.

Engeri gye bagezza akabina:

Olupapula lwa ‘Daily Mail’ olufulumira mu Bungereza lwategeezezza nti mu nkola y’okugezza akabina, baddira amasavu omuntu g’alina mu lubuto ne bagasikamu nga bakozesa empiso oluvannyuma ne bagasindika mu kabina naddala mu bifo omuntu by’ayagala okugezza. Akabina kano tekakolebwa muntu ateesobola kubanga kamalawo ddoola 8,000 nga bwe bukadde obusoba mu 28, obugula poloti ku nkingizzi z’ekibuga Kampala.

Sir Bruce Keogh dayirekita w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku byobulamu mu Bungereza nga gavumenti gwe yawa obuvunaanyizibwa  okulondoola enkola y’okukyusa endabika y’omuntu yagambye nti, kyetaagisa okussaawo amateeka amakakali ku nkola eno. N’agamba nti kino ekyaguddewo kiyambe abantu okumanya nti okukyusa endabika y’omuntu kyabulabe eri oyo akikoze. Ono y’asoose okufiira mu Bungereza nga mugezezza akabina.

Kizza baamulongooserezza mu ddwaaliro lya BMI Clementine mu North London era ekiro ekyo yakimaze  mu ddwaaliro, enkeera ne bamusiibula kyokka bwe yatuuse eka n’atandika okuwulira obulumi newankubadde nga baabadde bamuwadde eddagala.

Mikwano gye be yabadde tasoose kutegeeza nga bagenda okumulongoosa yabakubidde amasimu n’okubaweereza obubaka ng’abagamba nti ali mu bulumi obutagambika era enkeera ne bamuddusa mu ddwaaliro eririraanyewo erya Northwick Park. Mukwano gwe ataaayagadde kwatuukiriza mannya ategeezezza aba ‘Daily Mail’ nti, abasawo bwe baamukebedde baazudde nga puleesa ye eri wansi nga n’akabina katandise okulebera n’okuggwaamu obusimu obuwulira. Baasoose kumuwa makerenda g’obuwuka kyokka olw’embeera embi gye yabaddemu n’obulumi, yazirise.

Abasawo baakizudde nti omusaayi gwabadde tegukyatambula bulungi mu mubiri, kwe kumutwala okumulongoosa bamuggyemu obutoffaali obwabadde bugaana omusaayi okutambula obulungi. Kyokka  embeera ye yeeyongedde okwonooneka era baagenze okumukebera nga n’akawago tekakyasobola kukola. Baamutadde ku kyuma ekirongoosa omusaayi kyokka n’agaana okudda engulu. Omusawo eyamulongoosezza, Vadodaria yagambye nti ekyaguddewo kyannaku.

Ekivaako abantu okufa nga bagezeza obubina

Polof. Dr. Fuat Yuksel yagambye nti abantu abasinga abafa nga bagezza obubina kiva ku masavu okuzibikira emisuwa ne kiremesa omusaayi okutambula obulungi okutuuka ku mutima. Okuva mu October w’omwaka oguwedde, omuwendo gw’abantu abaagala okugezza obubina gulinnya buli olukya.

Maama Uganda nga tannageza kabina ate ku ddyo ng’akagezzezza.

Akange nakagezza era nsagala

Bya MEDDIE MUSISI

Omuyimbi amanyiddwa nga Maama Uganda eyayimba Nninze olw’omukwano, agamba nti bwe yalabanga abawala abalina ffiga zaabwe ng’abeegomba naye kye yava asalawo okuginoonya e Canada.

Agamba: Nagenda e Canada mu 2009  ng’eno gye baali bantegeezezza nti y’eri abasawo abakugu abasobola okunnyamba okufuna akabina n’amakudde.

Natuukirira abakugu mu by’ensusu mu Canada ne mbannyonnyola obuzibu bwange  ne bankakasa nga bwe bajja okunkolako nfune kye nneetaaga. 

Abakugu baasooka kunneekebejja omwali okukebera omusaayi era n’ekyaddirira kumpa mpeke n’ebizigo bye  natandika okukozesa. 

Nga wayise emyezi ebiri nga nkozesezza bye bampadde, natandika okufuna akabina n’amakudde.bye saalina.

Tewali ddagala ddala lye bampa okuggyako ebiragiro  ku bye nalina okukozesa omwali ebika by’emmere gye nalina okulya ssaako ebibala n’okunywa amazzi.

Enkola eno ngitambuliddeko kati emyaka musanvu era kye nali njagala nakifuna.

We nagendera e Canada nali nzitowa kkiro 52 kati ndi mu 83 era okwekuuma nkola dduyiro. 

Dokita awabudde

Dr. Kyeyune owa Naluggya Clinic e Zana agamba nti wadde abakyala bangi beeyunidde okwagala okugezza obubina n’amakudde, enkola eno erina ebizibu byayo.

“Ebizigo ebimu ebikozesebwa bireeta kkansa w’olususu. N’empeke nazo waliyo ezimu ezivaako endwadde z’omutima, omugejjo ogusukkiridde oba omuntu okukenena ennyo. Obulwadde obulala mulimu ensigo n’ekibumba okulekera awo okukola obulungi.

 

Munnayuganda eyagenze okugezza akabina afiiriddeyo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kusasira1 220x290

Museveni adduukiridde ab’enju ya...

Pulezidenti Museveni atisse omuyimbi Catherine Kusasira, obukadde 20 ez’amataaba eri famire ya Yasin Kawuma.

Njiri 220x290

Omulabirizi atutte e Namirembe...

OMULABIRIZI wa Ankole yakubiddwa emizira ng’abuulira enjiri y’okukola n’okufuna ssente e Namirembe ku mikolo gy’okufundikira...

Kiwaani 220x290

Pulezidenti baamusibye kiwaani...

Ekyuma ky'amata Pulezidenti kye yatongozza kyogezza ab'e Kawempe ebikankana oluvannyuma lw'okukitwala amangu ddala...

Kimala 220x290

Ensibuko y'erinnya Uganda

ERINNYA Uganda lyava mu kigambo Buganda oluvannyuma lw’Abaswayiri abaawerekera Abazungu okujja kuno nga tebasobola...

Kabenje3 220x290

Omu afudde mu kabenje ka loole...

LOOLE ya seminti eyingiridde ey’omusenyu ku lw’e Masaka okukakkana ddereeva omu n’afiiriwo ate abalala 5 ne baddusibwa...