TOP

Omulangira Jjuuko asobeddwa ku bakyala kye baagala

By Musasi Wa

Added 24th August 2015

OMUYIMBI omuto, omulangira Abba Jjuuko aleese oluyimba lw’atuumye ‘Love Game.’ Mu luyimba luno, Jjuuko yeewuunya engeri abakyala gye balekawo abasajja abalina ssente ne babuuka n’abaavu ekiraga nti tebamanyi kye baagala.

2015 8largeimg224 aug 2015 093334857 703x422

 Bya JOSEPHAT SSEGUYA

OMUYIMBI omuto, omulangira Abba Jjuuko aleese oluyimba lw’atuumye ‘Love Game.’ Mu luyimba luno, Jjuuko yeewuunya engeri abakyala gye balekawo abasajja abalina ssente ne babuuka n’abaavu ekiraga nti tebamanyi kye baagala.

Jjuuko yakutte vidiyo y’oluyimba luno ng’erimu omusajja bifeekeera atalina budde bwa muganzi we ng’ate owa bodaboda abeera okumpi n’omukazi ono amusonseka obugambo obw’okumukumu. Okuyimba Jjuuko yakutandika mu 2011 ng’alina ennyimba omuli My lover, Gumiikiriza, Okwagala, Akasimu kange, Rhythm n’endala.

Ayimba yekka era agamba abamuyambye okutumbula ekitone kye kuliko; Brig. Elly Kayanja ne kitaawe, Charles Ssekiwunja ow’e Masaka. Mukyala we ye Jamira Nakaliisa nga babeera Nateete Central A era balina omwana omu.

Omulangira Jjuuko asobeddwa ku bakyala kye baagala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...

Newsengalogob 220x290

Ayagala tuddiηηane

WALIWO omusajja twali twagalana n’awasa omukyala omulala ne bazaala n’abaana naye kati yakomawo gyendi nti ayagala...

Newsengalogob 220x290

Sikyafuna bwagazi kwegatta

Naye ng’omwami wange alina abakyala abalala basatu nze takyanfaako era agamba nti abakyala abalala bamusanyusa...

Newsengalogob 220x290

Lwaki abasajja abamu tebaagala...

LWAKI abasajja abamu tebaagala bakazi oba muwala aliko embuzi?

Lovelies 220x290

Ebisoomooza ku mitendera egy’enjawulo...

ABAMU basala magezi ga kubuvaamu, sso ng’oyo atannabufuna asiiba asaba n’okwegayirira Lugaba amufunire omutuufu....