TOP

Martin Luther Nsibirwa: Katikkiro wa Buganda eyazimba embuga z’amasaza zonna

By Musasi Wa

Added 27th September 2015

OLUVANNYUMA lw''emyaka 70 ng’afudde, erinnya lya Martin Luther Nsibirwa likyavuga mu Uganda yonna!

2015 9largeimg227 sep 2015 114252443 703x422

Bya HERBERT MUSOKE

OLUVANNYUMA lw'emyaka 70 ng’afudde, erinnya lya Martin Luther Nsibirwa likyavuga mu Uganda yonna!

Kino kivudde ku kuba nti ebirungi bye yalekera ensi eno bikyalabwako ne kaakati. Nsibirwa yali Katikkiro wa Buganda emirundi ebiri.

Muky. Rhoda Kalema omu ku bawala ba Nsibirwa agamba nti kitaawe yali musajja ayagala ennyo enkulaakulana n'okukola ebintu ebisobola okutwala Obuganda mu maaso.

Yakola ebintu bingi na kati ebikyali eby'omugaso mu ntambuza y'emirimu mu Buganda ne Uganda. "Kitange yawaayo obulamu bwe okukolerera Obuganda okulaba nga bufuna ekisingawo ekyatuuka n'okumukubya essasi eryamuttirawo bwe yali ayingira mu Lutikko e Namirembe okusaba ku makya.

Muky. Rhoda Kalema 

Yalondebwa ku Bwakatikkiro bwa Buganda ekisanja ekyasooka mu 1929 n’asaba okuwummula mu 1941 olw'okusika omugwa okwaliwo n'abamu ku bakungu nga bawakanya enteekateeka ze yalina ye ze yalaba nga zisobola okutwala Buganda mu maaso.

Omanyi mu kiseera ekyo, ng'onoobeera n'emirembe Omuganda nga tomukwatira ku Kabaka n'ettaka. Wabula Gavumenti y'amatwale mu kiseera kye kimu yali emaze okuzimba yunivasite y’e Makerere kyokka nga baagala okuzimba yunivasite y'amawanga g'obuvanjuba bwa Afrika (University of East Africa).

Ne balaba ng’esobola kuzimbibwa Makerere kyokka ng’ettendekero eryaliwo mu kiseera ekyo lyali wafunda ate ng'ettaka eririnaanyeewo lya bwannannyini.

Kitange yayagala nnyo eby'okusoma wadde nga ye teyasoma era yayaniriza n'okuwagira enteekateeka y'okugaziya Makerere.

Yafuba okuperereza bannyini ttaka eryali liriraanye Makerere mu nteekateeka y'okubaliyirira oba okubawaanyisaamu ettaka eddala.

Wabula bannyini ttaka n'abamu ku bakungu be yali aweereza nabo kino baakiraba bulala era nga bagamba nti yeekobaanye b'Abazungu okubba ettaka lyabwe ne bakisimbira ekkuuli. Kino kye kyamuviirako okuva ku Bwakatikkiro mu 1941.

Mu kiseera kino nnalina emyaka 12. Twali tusula mu Butikkiro era twakwatamu ebyaffe ne tudda e Kayunga eyali amaka gaffe olwo enteekateeka zonna ez'okuzimba yunivasite ne zisuulibwa mu kasero.

Wabula Ssekabaka Muteesa II bwe yalaba ng'ebintu tebitambula bulungi n'amuyita era mu kitabo kye ekya 'The discretion of my Kingdom', Ssekabaka Muteesa II agamba nti, ‘Bwe nnamuyita okudda ku Bwakatikkiro yasooka kugaana, wabula bwe namujjukiza nti yasuubiza okuyamba kitange, n’akkiriza okuddamu okuweereza.’

Twakomawo era nga July, 7, 1945 yatuuzibwa ku Bwakatikkiro omulundi ogwokubiri. Kyokka entebe yagimalako emyezi ebiri gyokka kubanga yattibwa nga September, 5, 1945.

Okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa poliisi ne kkooti, kyazuulibwa nti bannannyini ttaka be baapangisa omutemu eyamukuba essasi.

Olwakomawo, Abangereza ne bajaganya ng'akimezezza okw’enjala kubanga yali awagira enteekateeka zaabwe ez'okuzimba yunivasite e Makerere era zaatojjera buto.

Kigambibwa nti baamutta okumutangira okussa omukono ku kiwandiiko ky'okusengula abantu abaali ku ttaka okwali kugenda okuzimbibwa yunivasite.

Kye bataamanya nti yali amaze okussa ku kiwandiiko omukono kubanga Katikkiro ye yalina okussaako omukono.

Bbo abaamutta baali bawuliddeko nti enteekateeka z’okussaako omukono tezinnaggwa, kati ne balowooza nti bw’aba tataddeeko mukono tewali kijja kugenda mu maaso.

NSIBIRWA Y'ANI?

Yazaalibwa omwami Kiwana mu 1883, eyali omuvubi e Buwe mu kizinga ky'e Ssese n'omukyala Priscilla Bulyaba. Teyasoma kugenda wala wabula yatwalibwa mu maka ga Katikkiiro Sir. Apollo Kaggwa gye yayigira okuwandiika n'okusoma n'obukodyo bw'obukulembeze okuva mu bafuzi b'amatwale era nga yakula n'okulambikibwa omwami Temiteo Mulondo.

Obulamu bwe bwonna yabumala aweereza Buganda.

Oluvannyuma yawasa abakyala abalala basatu okuli; Erina Nankya, Nawume Kipanda ne Veronica Namuddu era yaleka abaana 25 nga ku bano kusigaddewo bana okuli; Eseza Kironde, Robina Sserwada, John Nsibirwa ne Rhoda Kalema, so nga abazakkulu bbo tobala!

OKUSABA

Muky. Kalema agamba nti olw'okuba nti famire ya Nsibirwa esobodde okubeerawo okumala emyaka 70 ng'amaze okufa, bategese okusaba okwenjawulo okwebaza Katonda olw'emirimu gye yakolera Buganda n'okukuuma famire ye ng'ekyali wamu.

Okusaba kuno kwakubeerawo ku ssaawa 9:00 ez'olweggulo olwaleero (Ssande nga September 27, 2015) mu Lutikko e Namirembe ng'okusaba kwakukulemberwamu Omulabirizi w'e Mityana eyawummula, Rtd Rt. Rev. Wilson Mutebi era nga Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga y'agenda kubeera omugenyi omukulu.

 

Martin Luther Nsibirwa: Katikkiro wa Buganda eyazimba embuga z’amasaza zonna

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Kasibante2 220x290

Omubaka Kasibante atereezezza obufumbo...

MOSES Kasibante omubaka wa Lubaga North atereezezza amaka, bw’ayanjuddwa mu kitiibwa ku mukolo ogwetabiddwaako...

Jmcweb 220x290

Kyetume ekutudde JMC Hippos

Kyetume evudde emabega n'ewangula JMC Hippos mu Big League mu ddakiika ezisembayo

Afcon16 220x290

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda...

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda mu AFCON2018 e Cameroon.

2016manuvbournemouthbailly 220x290

AC Milan ayingidde olwokaano lw'okugula...

Bailly yava mu Vallrreal eya Spain okwegatta ku ManU.

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana