TOP

Kitaffe Musa Body omusingi gwe yasima kwe tutambulira

By Musasi Wa

Added 11th October 2015

KYE nkakasa kiri nti kitaffe kye yalwanirira abaana be babe nga bakuze yakituukiriza, kuba ffenna okusinga yali ayagala tuyige emirimu gy’omu mutwe era gye tulimu.

 Bya HASIFAH NAAVA

KYE nkakasa kiri nti kitaffe kye yalwanirira abaana be babe nga bakuze yakituukiriza, kuba ffenna okusinga yali ayagala tuyige emirimu gy’omu mutwe era gye tulimu.

Mutabani w’omugenzi Musa Wakibi 75, eyakazibwako erya Musa Body, Ssaalongo Hadad Ssebbunza 32 bw’atandika okunyumya ku kitaawe, tamala.

Taata yali mutuuze w’e Najjanankumbi, yatuzaala abaana 13 okuli Rehema Najjuma, Hasifah Nabatanzi, Janat Namakula, Sofia Nabanjala, Musa Sserunjogi, Ibrahim Luyombya, Ismail Wakibi, Zulaika Nabunnya, Hadad Ssebbunza, Hakimu Nkubi, Safiina Nabukalu, Fatumah Nabukalu, Musa Katende, Ayubu Ssebbunza ne Musa Mayanja nga ffenna yatuzaala mu bakyala bana.

Taata yali azaalibwa Kakinzi mu Luweero disitulikiti, yasomera Kakinzi Primary, Boroboro High School- Lira eyo gye yava n’ajja mu ttendekero ly’ebyemikono e Kampala n’afuna satifikeeti mu kubajja era eno yatugamba baali basomesebwa Bazungu.

Yatandika okukola n’Abayindi nga bazimba ebitanda by’emmotoka, oluvannyuma yabeeyawulako ng’amaze okufuna obukugu obumala n’ajja e Katwe n’akola kkampuni eyiye gye yatuuma Musa Body Wood Works era ye Muddugavu eyasooka okukola ebiyumba by’emmotoka abasinga bye bayita bbode era erinnya kwe lyava okumukalako.

Abaamunoonyanga okumuwa bizinensi baagambanga nti, ‘Tunoonya Musa akola bbode z’emmotoka ne muvaamu erinnya Musa Body.

Yabajjanga bbode z’emmotoka nga za mbaawo, ebitanda, entebe, kkabada n’ebirala byonna. Wano we yava okutandikawo Musa Body Construction olwo n’atandika okuzimba ebizimbe eby’enjawulo okuli Sapoba e Katwe era yafuna kontulakiti y’okukolera Kampala City Council ebibajje.

Ssente bwe zaawera ekifo we yali akolera e Katwe yakigula n’atandika Musa Body Engineering Works ng’asaanuusa ebyuma.

Bino yabyongera ku kubajja n’okuzimba. Mmotoka zaava mu mbaawo ne zidda mu byuma. Kuno yagattako okuyiiya okukola ebyuma eby’enjawulo nga mwe muli n’ebyeyambisibwa okukola ate ebirala.

Mu bino byonna yafuna ekirowoozo ky’okutandika yunivasite n’atandika Musa Body University Of Technology mu 1992.

We yafiira yunivasite eno yali tekakasibwanga Gavumenti naye kati yakakasibwa era w’eri ekola era eyitibwa Musa Body Technical Institute.

TAATA ALWALA

Mu 1998 abasawo e Mulago baamutegeeza nti ensigo ze zombi ndwadde. Yaweebwa obujjanjabi naye nga bw’akola emirimu gye.

Mu 2002 yagenda e Kenya mu ddwaaliro lya Kenyata ne bamujjanjaba n’awona olwo n’asigaza puleesa nga y’emuluma. Bwe yali ava mu ddwaaliro e Kenya abasawo baamugaana okuddamu okukakaalukana asooke awummule nga talina ky’akola okumala ebbanga lya myezi nga mukaaga.

Olwadda awaka tewaayita na wiiki n’addamu okukola ng’alaba emirimu gye gifa bw’aba tagyenyigiddeemu.

Okuddamu okukakaalukana kuno kwamugonza n’atandika okulwala era mu 2003 nga August 30 bwakeera ku makya nga mufu kuba yafiira mu buliri bwatyo n’aziikibwa e Luweero Kakinzi.

Taata yali tayagala mwana wa kyejo n’oyo azannyira mu kusoma. Yayagala nnyo twenyigire mu mirimu gy’omu mutwe era nga gino tegiriiko mulenzi oba muwala.

Kino kyatuukirira era we twogerera abaana be ffenna buli omu alina omulimu gw’omu mutwe gw’akola. Abamu bali mu kkampuni ye abalala beekozesa era nga gitambulira mu mirimu gye gye yalinga akola.

Yali musajja eyayagala ennyo okuyamba abantu era mu Katwe eyo likodi ekyaliwo.

Yali musajja ayayagala abaana be ne bakyala be nga tatujuza mu buli kimu.

Kitaffe Musa Body omusingi gwe yasima kwe tutambulira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...