TOP

‘Ebitone byansukkako ne binnemesa okusoma’

By Musasi wa Bukedde

Added 11th June 2017

Nali nduubirira kuyita bigezo kyokka ebitone byanfuukira ‘magineeti’ nga binsika okunzigya ku bitabo, okukkakkana nga n’ebigezo eby’akamalirizo sibikoze era awo we nakomya emisomo gyange!

Buliiro1 703x422

Nakiyimba

NAKIYIMBA azannya mu fi rimu ya ‘Nawolovu’ eragibwa ku Bukedde TV muwala wa Nooh Nsamba ne Annet Nakimera e Buliiro mu disitulikiti y’e Masaka.

Yazaalibwa mu 1990.

Agamba: Fiizi ezampeerera zonna zaavanga mu bitongole eby’enjawulo olw’ebitone bye nalina omuli okuyimba, okuzannya katemba, okubaka, okukuba ebivuga, n’okudduka.

Nasomera St. Girls P/S Kabwoko Masaka ne Kabwoko SS Masaka. Bwe natuuka mu S5 obudde bw’ebitabo bwambula.

Bwe navanga mu kukuba ebivuga ate abeemisinde oba omupiira ne bannona.

Nabanga nneetegeka okusomako, ate ne bayita abayimbi!

Bwe natuuka mu S6, nasalawo okwemalira ku bitabo nga njagala nneesonyiwe ebitone ebintaataaganya.

Nali nduubirira kuyita bigezo kyokka ebitone byanfuukira ‘magineeti’ nga binsika okunzigya ku bitabo, okukkakkana nga n’ebigezo eby’akamalirizo sibikoze era awo we nakomya emisomo gyange!

Kyokka ebitone byange sibyevuma kubanga byannyamba okufuna omukisa Kabaka n’ankwatako mu ngalo ng’anneebaza okuba omukubi w’engalabi nnakinku.

Oluvannyuma najja e Kampala okunoonya emirimu era natuukira Bulenga.

Natandikira mu wooteeri gye nafunira omukisa okulabanga Ebinnayuganda ku ttivvi.

Byannyumiranga kyokka ne ndaba nga byonna bye bazannya mbisobola.

Nga wayise omwaka, baalanga nga bwe waliyo Ekinnayuganda ekigenda okuzannyibwa ku Bat Valley.

Wadde saalina ziyingira, nagenda nga nsabirira kimu nfune oluwenda bwe ntandika okuzannya firimu.

Eyo gye nasisinkana Ahmed Lubowa ne mmutegeeza ekyandi ku mutima era yakkiriza ne bantendeka ne mbeegattako.

Nzannye firimu omuli; Akalyamaggwa, Nsombabyuma, Vvulugu mu laavu ne Nawolovu.

Mu firimu ya Nawolovu nzannya nga Nakiyimba era nnina bannyinaze babiri ne muganda wange omu.

Bannyinaze baagala kutunda ttaka abazadde lye baatulekera era baatugoba awaka. Naye ettaka linaatukomya wa? Ebisingawo birinde ku Bukedde TV.

Mu bazannyi b’Ebinnayuganda abansingira kuliko; Ahmed Lubowa ne Bbosa Sserunkuuma.

Ate ebweru, enzannya y’Omunigeria Genevieve Nnaji ne Jim Ike enkolera. Nnyumirwa okuwuliriza ennyimba n’okulaba firimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600