TOP

Rema atadde Kenzo ne Walukagga ku minzaani

By Musasi Wa

Added 19th September 2012

MWANAMUWALA Rehema Namakula abangi gwe baakazaako erya Rema, bw’amoola ebiiso abasajja amalusu ne bamira muganda.

2012 9largeimg219 sep 2012 114643487 703x422

MWANAMUWALA Rehema Namakula abangi gwe baakazaako erya Rema, bw’amoola ebiiso abasajja amalusu ne bamira muganda.

Ennaku zino bangi abasuza bakukunadde ate abalala bamukanulidde amaaso baagala kumukwabula mbu kyokka naye mugezi buli mutego gwe batega gw’ategulula.

Rema ye yayimba ‘Oli wange’ olukutte abantu omubabiro. Wabula waliwo ebigambibwa nti mwanamuwala ono alina enkolagana ey’enjawulo ne Eddie Kenzo ekireetedde n’abantu okulowooza nti oba Kenzo kwe yava okukuba oluyimba ‘Ojja kunzisa’.

N’ebivvulu Kenzo byazze akola mu bitundu by’e Masaka abadde ne Rema nga n’oluusi teboonoona ssente kupangisa bisenge bibiri.


Omuyimbi Walukagga ng’ayimba. Ate ku ddyo, Eddie Kenzo owa ‘Ojja Kunzisa’

Kyokka omu ku banywanyi ba Rema yatugambye nti oyo wolokoso ataliiko mutwe na magulu era baagala kwonoona linnya lya mwana.

Omanyi Rema bwe yali ava ewa Bebe Cool yamutegeeza nga bw’agenda mu kyalo n’essimu n’agiggyako ekyamunyiiza n’alayira okufaafagana n’omuntu ayagala okupaaza muwala we.

Kino kye kyagobya ne Emma Sserugo eyali maneja wa Bebe Cool  mbu ng’amupangira abasajja n’okwagala okumukozesa endagaano adduke mu Gagamel. Abayimbi abalala kuliko ‘Ssaalongo’ Matthias Walukagga eyapokeranga Rema omusimbi.


Rema ne ffiga etengula abasajja.

Wabula mbu ono ekyamukola obubi kugenda nga yeesoma nga bwali mu kintu ng’ate si bituufu. Walukagga yalaba bamufuuye kwe kutandika okuteeka omu ku banywanyi ba Rema bwe bakutula ddiiru z’emirimu ng’agamba nti yamulemesa.

Omulala eyali agezaako ye maneja wa bbandi emu kyokka omuwala naye n’amufubutula ng’agamba nti si ka ssente tasobola kuganza basajja bakulu kumusiraanya.

Rema atadde Kenzo ne Walukagga ku minzaani

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...