TOP

Stecia Mayanja; bba Kitaka amusikizza embooko

By Musasi Wa

Added 11th May 2013

BBA wa Stecia Mayanja, Fred Kitaka ayingizzaawo embooko y’omukazi, Stecia ne yeesika.

2013 5largeimg211 may 2013 114501827 703x422

 

 

 

 

Bya JOSEPHAT SSEGUYA


BBA wa Stecia Mayanja, Fred Kitaka ayingizzaawo embooko y’omukazi, Stecia ne yeesika.
Kitaka yayingiddewo ku ssaawa nga ttaano ez’ekiro mu lumbe lwa Martin Angume olwasoose ku National Theatre ku Mmande n’omuwala Mariam Kisaakye ‘Kapaapaala’ (eyazina mu vidiyo ya Kapaapaala eya David Lutalo) ekintu ekirabika nga tekyasanyusizza Stecia.

Baabadde mu lunyiriri olugenda okukuba eriiso evvannyuma ku mugenzi, enkuba n’eyiika omulundi gumu. Kisaakye yakutte akatebe ne batandika okunoonya we beewogoma ne Kitaka. Ye Kitaka yabadde akutte eccupa y’omwenge.

Ababiri bano baludde nga boogerwako ng’abali mu mukwano omuzito naye nga gukyali gwa kyama.

Stecia ng’akutte ku ttama mu kiseera Kitaka we yayingiriddewo ne Kisaakye mu lumbe lwa Angume.

Gye buvuddeko, omuyimbi Stecia Mayanja ne Kitaka baatabuka bubi ng’omukyala agamba nti baali bamugasseeko abakazi abalala n’atuuka n’okumulangira okumwanjula n’aleeta ebintu eby’ekiwaani omuli n’emmotoka. Kuno Stecia yagattako okukuba oluyimba lwa ‘Tosala gwa kawala’.

Kitaka bwe yatuukiriddwa ku ssimu ku Lwokutaano ku makya yategeezezza nti Mariam mukwano gwe naye yamusanze mu lumbe.

Yagasseeko nti tebalina nkolagana nneekusifu kyokka n’agamba nti ebibye ne Stecia byaggwaawo newankubadde nga yamwetondera bwe yali atongoza oluyimba lwe olwo waggulu. Yagasseeko nti mu kiseera kino anoonya mukyala.

Mariam Kisaakye ‘Kapaapaala’ agambibwa okuba muganzi wa Kitaka omupya.

Bwe twabuuzizza Kisaakye yasoose kuseka oluvannyuma n’agamba, “Haa... naye bantu mmwe! Era mwatulabye.... Kyokka nnamusanga awo ne tunyumya okutuusa olumbe bwe lwaggwa...”

Ate Stecia yategeezezza nti, ‘Nze nsaasira busaasizi bawala Kitaka b’akwana. Oyo nnamuta ate mu kiseera ekyo nnali mu nnaku, ebyo si bye nnaliko”.

Kisaakye ne Kitaka nga bayingirawo mu nkuba ku lumbe lwa Angume.Ebifaananyi byonna bya Josephat Sseguya

Stecia Mayanja; bba Kitaka amusikizza embooko

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...