TOP

Rema adduse ewa Kenzo n’agenda ewa Ssaalongo!

By Musasi Wa

Added 22nd June 2013

AGAVA e Buziga omuyimbi Eddie Kenzo owa Sitamina gyabuyiwa ennaku zino ge ga mukwano gwe Rema Namakula owa ‘Oli wange’ okumuddukako.

2013 6largeimg222 jun 2013 093059257 703x422AGAVA e Buziga omuyimbi Eddie Kenzo owa Sitamina gyabuyiwa ennaku zino ge ga mukwano gwe Rema Namakula owa ‘Oli wange’ okumuddukako.

Mbu asibidde wa maneja wa Chris Evans, Ssaalongo Godfrey Kayemba ng’era gye biggweeredde nga bakutudde ddiiru. Ddiiru gye balimu si ya ‘gundi nkwagala’ wabula ya bbizinensi na kukola ssente.

Owoolugambo waffe atugambye nti Rema yasabye Kayemba amugatte ku Chris Evans naye amumanejinge n’okumuyambako okumutambuliza ennyimba ze.

W’osomera bino nga bateekateeka kukwata vidiyo y’oluyimba lwe olupya ‘Kukaliba’. Kayemba yagambye nti Rema muyimbi mulungi ng’abadde abulamu omuntu amukwata ku mukono era kye yakoze.

Wabula abamu olwawulidde bino ne beebuuza nti Kayemba ayagala kukola bbandi?

Omuyimbi Bebe Cool ye yasooka okukaayanira Rema ng’agamba nti ye yamuyigiriza okuyimba era yamuteekamu ssente ze nnyingi nga tasobola kukkiriza muntu mulala kumuzannyirako.

Rema adduse ewa Kenzo n’agenda ewa Ssaalongo!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...