TOP

Sseremba awonye ekkomera

By Musasi Wa

Added 9th January 2014

Fred Sseremba amaaso gamumyuse bw'akwatiddwa poliisi ng'eyagala okumuggalira.

2014 1largeimg209 jan 2014 131840460 703x422Fred Sseremba amaaso gamumyuse bw'akwatiddwa poliisi ng'eyagala okumuggalira.

Sseremba mutabani w'omugenzi Christopher Ssebadduka yali ayimbira mu kibiina kya Mathias Walukagga ekya Vision Production n'amwewaggulako ng'amwogerera ebisongovu.

Yamulumiriza n'olumu nti yabba olumu ku nnyimba ze. Bwe yavaayo, yasalawo okukola ekibiina kye n'akituuma SS Royal Production era nga wano obuzibu we bwatandikidde.

Owoolugambo waffe yatutegeezezza nti mu biseera bya Ssekukkulu, waliwo omugagga eyateeka mu kibiina kino ssente okuyimba e Kyanamukaaka ne Kaleegero mu Masaka. Ebivvulu bino tebyaggwa mirembe olwa genereeta okugaana okwaka ne balemwa okuyimba.

Omugagga kino kyamunyiiza okukkakkana ng'ensonga azikwasizza poliisi y’e Nansana.

Sseremba baamusaba okuzzaayo ssente 2,600,000/- ze yaweebwa z’ataalina mu kiseera ekyo. Yalaba bamutwala mu kkomera kwe kukubira banywanyi be okumutaasa era mu banywanyi abaayanguye kwe kwali mukama we, Walukagga, Kazibwe Kapo, Mark Makumbi n’abalala ne bamutaasa.

Sseremba awonye ekkomera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.