TOP

Lillian atabudde Moze n’aba Goodlyfe abalala

By Musasi Wa

Added 14th February 2014

AGAVA mu nkambi ya Goodlyfe e Makindye ge ga Moze Radio okuba nti takyakwatagana bulungi ne banne okuli Weasle ne bamaneja ekireeseewo okutya nti abavubuka bano ababadde bawambye mu kukuba emiziki nti bandiddirira.

2014 2largeimg214 feb 2014 123501253 703x422AGAVA mu nkambi ya Goodlyfe e Makindye ge ga Moze Radio okuba nti takyakwatagana bulungi ne banne okuli Weasle ne bamaneja ekireeseewo okutya nti abavubuka bano ababadde bawambye mu kukuba emiziki nti bandiddirira.

Kigambibwa nti embeera eno evudde ku mateeka amakakali Lillian Mbabazi (maama w’omwana wa Moze) ge yatadde ku Moze okuli n’okumulagira akyuse mu nneeyisa atandike okulowooza ng’omusajja omukulu.

Yamugambye akendeeze ku ngeri gy’acakalamu n’obudde bw’amala ebweru ekiro okuggyako ng’agenda kukola n’okuwa famire ye obudde obumala.

Wadde nga Lillian ye ayinza okuba omusanyufu kuba Moze yatandise okugondera ebiragiro bye anti n’okucakala kati yakuvuddeko.

Owoolugambo waffe yatutegeezezza nti ennaku zino Weasel alabibwa ng’atambula yekka ekiro ne mu bbaala gye baateranga okukasibira.

Bo abavubuka ba Goodlyfe abalala kigambibwa nti si basanyufu olwa Moze okukendeeza ku budde bw’awa emirimu gy’ekibiina ate nga ye muyiiya waabwe.

Mbu kati Moze obudde obusinga abuwa famire ye na kukola bizinensi ze ng’omuntu anti ne gye buvuddeko yagguddewo ebbaala mu bitundu by’e Wandegeya.

Lillian atabudde Moze n’aba Goodlyfe abalala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga