TOP

Chameleon ayigga maneja omupya okusikira Nkuke

By Musasi Wa

Added 19th October 2015

OLUVANNYUMA lw’omuyimbi Jose Chameleone okuvaayo wiiki ewedde n’alangirira mu butongole nga kontulakiti wakati we ne Jackson Nkuke, amanyiddwa nga Mutima abadde maneja we bwe yaggwaako era takyavunaanyizibwa ku mulimu gwa Leaon Island gwonna.

 OLUVANNYUMA lw’omuyimbi Jose Chameleone okuvaayo wiiki ewedde n’alangirira mu butongole nga kontulakiti wakati we ne Jackson Nkuke, amanyiddwa nga Mutima abadde maneja we bwe yaggwaako era takyavunaanyizibwa ku mulimu gwa Leaon Island gwonna.

Wabula agava mu kibiina kya Leone Island galaga ng’omukulu ono bw'ali mu kwogereza Sam Mukasa, eyali maneja we kyokka nga kati ye maneja wa King Saha okuddamu okukola omulimu guno.

Okusinzira ku kiwandiiko Chameleone kye yatadde ku mukutu gwe ogwa Face Book alaga nti kontulakiti ya Mutima yaggwaako mu mwezi gwa March era si mweteegefu kugizza buggya.

Omu ku bamuli ku lusegere, ataayagadde kumwatuukiriza mannya yatutegeezezza nti Chameleone okulwawo okuvaayo abadde anoonya anaddira Mutima mu bigere kyokka kirabika alemeddwa okufuna omuntu ategeera obulungi omulimu guno ate ng’akwatagana naye kubanga bangi bagusabye omuli ne mukulu we David era y’ensonga lwaki azzeemu okulowooza ku Mukasa eyakola mu kifo kino emyaka egyasoba mu munaana (8) ate nga n’ebbanga ettono ly’akutte King Saha ku mukono ayongedde okukakasa nti obwamaneja bw’abayimbi abuteegera bulungi.

Chameleon ayigga maneja omuppya: Atandise okuperereza Sam Mukasa,

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Kit1 220x290

Batutte omulambo ku disitulikiti...

Batutte omulambo ku disitulikiti lwa kubamma bbaluwa

Kit1 220x290

Omuzungu eyasobya ku atanneetuuka...

Omuzungu eyasobya ku atanneetuuka akwasizza abazadde

Tr1 220x290

Poliisi ekunyizza abaatomedde owattulafiki...

Poliisi ekunyizza abaatomedde owattulafiki

Lip1 220x290

Beekalakaasizza ku bya poliisi...

Beekalakaasizza ku bya poliisi okutta Omuddugavu

Kat1 220x290

Embeera ya Kasirye Ggwange eyongedde...

Embeera ya Kasirye Ggwange eyongedde okubijja