TOP

Akalulu tekabaawula

By Musasi wa Bukedde

Added 5th January 2016

Nabukenya ne Ying. Lillian Nakate bagasimbaganye

Br2 703x422

Nakate ne Nabukenya nga babuuzaganya.

 

OMUBAKA omukazi owa Luweero Brenda Nabuke­nya (DP) yasanze akas­eera akazibu bwe baamu­tuuzizza kumpi ne munne bwe bavuganya Ying. Lillian Nakate (NRM) ku mukolo ogwabadde ku Klezia e Kasana.

Nabuke­nya ye yasoose okutuuka n’oluvannyuma ne zireeta Nakate ne babatuuza bombi nga balinga ababagamba nti, ‘‘bannya­bo akalulu tekabaawula’’. Kyokka obwedda buli omu tayagala kutunula ku munne. Omusumba w’essaza lya Kasana - Lu­weero, PaulSemwogerere yeetegerezza abantu bano n’embeera gye baabad­demu n’abasaba buli omu aleme kulaba munne nga omulabe wa munne n’abalagira okwekwatako mu ngalo kye baakoze abantu ne bafa essanyu.

Omusumba yabagam­bye, “bannange, mukyali bawala bato era mujjidde  mu langi za njawulo naye ekyo saagala kibaawukanye era temweyuzaayuza, oku­vumagana n’okwekonjera Luweero lw’ejja okugenda mu maaso”. Oluvannyuma baalabiddwaako nga beekuba obwama. Kirabika ebigambo byabayingidde                                    

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kit1 220x290

Abagambibwa okutta Bayinvesita...

Abagambibwa okutta Bayinvesita bakwatiddwa abalala babataddeko obukadde 10

Kam2 220x290

Abagambibwa okusanga akawanga ka...

Abagambibwa okusanga akawanga ka maama waabwe mu ssabo beebazizza Museveni okubayamba

Tip2 220x290

Ssemaka yecanze n'azaalukuka omwana...

Ssemaka yecanze n'azaalukuka omwana we

Tot1 220x290

Vision Group etandise enteekateeka...

Vision Group etandise enteekateeka y'ekivvulu kya Toto

Jose11 220x290

Abaggyeemu obwesige

ManU, eri bubi nga mu Premier eri mu kifo kyamunaana nga Man City ekulembedde ebasinza obubonero 12.