TOP

Batabukidde omukazi asuza nnyazaala mu kaabuyonjo

By Musasi wa Bukedde

Added 10th January 2016

Nnyazaala eyawa mukamwana we obubudamu amufuukidde ezzike n'amugoba mu nnyumba gattako okumusiranga mu kabuyonjo ng'agamba nti akaddiye

Kasalabecca1 703x422

Ennyumba Ainaitwe gye yagobamu Namukwaya. Ku ddyo, Namagembe mulamu wa Ainaitwe.

AKABWA ke weeyolera ke kakuluma enteega. Kino kye kituuse ku mukadde Margaret Namukwaya eyawa mukamwana we obubudamu kyokka kati amufuukidde ezzike amugobye mu nnyumba nga kw’atadde n’okugiwasizzaamu omusajja wamu n’okumusibiranga mu kaabuyonjo ng’agamba nti akaddiye alina kufa bamuwone.

Carol Ainaitwe ow’e Nakabugo- Bulaga A ku lw’e Mityana yafuukidde nnyazaala we ekizibu. Florence Namagembe mulamu wa Ainaitwe yategeezezza nti mukulu we Ivan Museeve ali ku kyeyo e London yaleka azimbidde nnyina ennyumba.

Oluvannyuma Ainaitwe yamwegayirira amusuzeeko mu galagi kye yakola nga tamanyi nti yeeyolera kabwa kumuluma nteega n’okwagala okumuzza mu kyalo.

Ekyo tekyamumalira n’amugoba awaka ng’atiisatiisa okumutta. Embeera eno yeeraliikirizza abatuuze ne bamulumba nga baagala okumukuba.

Abatuuze baabakana n’omulimu gw’okuzimba omwala kyokka bwe batuuka ku maka ga Namukwaya, Ainaitwe ge yawamba n’abalemesa n’azimbawo ekikomera.

Kino kyanyiizizza abatuuze ne bamulumba kyokka ne yeesibira mu nnyumba ekyabawalirizza okukimenya.

Ainaitwe ensonga yazitutte ku poliisi y’e Bulaga omusango ne bagugoba olw’effujjo lyazze akola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...