TOP

Okwoza ebyuma bya Mbuga kutabudde bakanaabe

By Musasi wa Bukedde

Added 15th January 2016

Mbuga yabadde agenze yeeyanjule mu kkooti gye yali yalagirwa okudda ku by’omusango mukazi we Leila Kayondo gwe yali yamuwawaabira okumukuba n’amutuusaaako obuvune.

Yoza1 703x422

Mbuga (ku kkono) ne mmotoka ze.

Omugagga SK Mbuga yaleese akacankalano mu bakanaabe ne kabula kata ebifuba bibabugume. Byabadde woolezebwa mmotoka okumpi ne kkooti y’e Makindye ku Lwokubiri ku ssaawa nga 4:00 ez’oku makya.

Mbuga yabadde agenze yeeyanjule mu kkooti gye yali yalagirwa okudda ku by’omusango mukazi we Leila Kayondo gwe yali yamuwawaabira okumukuba n’amutuusaaako obuvune.  

Yabadde tayagala bannamawulire ku kkooti bamulabe ng’ayagala kkooti agyesogge kimpowooze. Yaggyidde mu Benz ekika kya AMG, olwo mmotoka ze endala ezaabamuwerekeddeko okuli Jeep ne Range Rover ne ziyingirawo.

 akanaabe nga balwanira okwoza mmotoka za  buga ku kkooti e akindye Bakanaabe nga balwanira okwoza mmotoka za SK Mbuga ku kkooti e Makindye

 

Mu kukola kino, yayagadde emmotoka azireke ku ‘washing bay’ kyokka bakanaabe olwazirabye ne balowooza nti mirimu  bagenda kweyoolera ku musimbi.

Ekyaddiridde lwabadde lwogaano na kukwatagana mataayi ekyawalirizza n’abaabadde ku kkooti ate okuvaayo balingize ekigenda mu maaso. Oluvannyuma bakanaabe bakkiriziddwa okuzoozaako era mu kugenda baasasuddwa buli omu n’asigala na kamwenyumwenyu. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...