TOP

Gitawo atadde ssente mu ba Ghetto Kids

By Musasi wa Bukedde

Added 16th January 2016

Badduukiriddwa okujjukira munnaabwe omugenzi Ssempijja

Gta2 703x422

Manager wa Ghetto kids ng'alaga ssente ezaabaweereddwa Camerooni Gitawo

ABAANA abazinira mu luyimba lwa ‘Sitya loosi’ olwa Eddy Kenzo ba Ghetto Kids/ Triplets bagudde mu bintu.

Ssente ze baabadde banoonya okukola vidiyo y’oluyimba ‘Gingale’ okujjukira munnaabwe Alex Ssempijja eyafa oluvannyuma lw’okufuna akabenje omugagga Cameroon Gitawo (Chris Mbibo) azibafunidde.

Gitawo ssente zino yazibasindikidde kuva South Afrika gy’abeera. W’akikoledde, abadde yaakamala okubadduukirira omwezi oguwedde n’ebintu ebikalu ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo ne ku masomero ne ssente akakadde ze yakwasa Patricia Nabakooza eyali ne Ssempijja mu kabenje kyokka ye n’asimattuka.

Gitawo akulira ekibiina kya ‘The Money Team Africa ‘(TMT) yabawadde 1,500,000/- ez’okukola vidiyo y’oluyimba lwabwe. Olwafunye ssente zino, baakulembeddwaamu maneja waabwe Dauda Kavuma ne basibira ku situdiyo ya Jah Live gye bakutulidde ddiiru y’okukwata vidiyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...