TOP

Katsha muninkini we amuzaalidde omusika ne yeewaana

By Martin Ndijjo

Added 24th January 2016

Kyaddaki, Katsha De Bank (Shafique Katumba) omu ku Bannayuganda bankubakyeyo e South Africa abamanyiddwa mu kuvuganya mu by'esswaga n’okulaga ssente afunye ku ssanyu, muninkini we Shakira Kayihura bw'amuzAalidde eddenzi ne yeewaana nti “nfunye omusika, amazzeeko ennaku y'ekkomera era omwaka ngutandise bulungi wadde naguyingira ndi musibe.”

Mwana 703x422

Okuva ku ddyo; Katsha, Shakira ne bbebi waabwe

Kyaddaki, Katsha De Bank (Shafique Katumba) omu ku Bannayuganda bankubakyeyo e South Africa abamanyiddwa mu kuvuganya mu by'esswaga n’okulaga ssente afunye ku ssanyu, muninkini we Shakira Kayihura bw'amuzAalidde eddenzi ne yeewaana nti “nfunye omusika, amazzeeko ennaku y'ekkomera era omwaka ngutandise bulungi wadde naguyingira ndi musibe.”

 
Shakira w'azaalidde nga Katsha ky'ajje ayimbulwe ku kakalu ka kkooti okuva mu kkomera e South Africa gye yasibwa mu mwezi gwa November ku misango egyekuusa ku bufere wadde ye Katsha agamba nti byonna ebyakolebwa omuli n’emisango egyamuggulwako byali bipange nga bikolebwa abantu abaali bagezaako okumulwanyisa olwa ssente ze, ekyamulemesa n'okujja mu Uganda mu December 'okujooga' nga bwe yali ategese okuvuganya n'abavubuka banne abali b'obulamu.
 
Shakira nga naye kati nga yeeyita Shakira De Bank yazaalidde ku Paragon Hospital e South Afrika era ono ye mwana wa Katsha asoose, bamutuumye Shahzad Jibran Katumba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...