TOP

Abazannyi bange banjiyeeyo ku Zambia - Micho

By Stephen Mayamba

Added 25th January 2016

Abazannyi bange banjiyeeyo ku Zambia - Micho

Coo2 703x422

Micho

WADDE nga Cranes eri mu kibalo ky’okwesogga ‘quarter’ z’empaka za CHAN, omutendesi waayo Micho Sredojevic agambye nti ne bwe banaaba tebayiseemu, ttiimu ye erina bingi by’eneeba efunye mu mpaka zino.

Cranes yakubiddwa Zambia ggoolo 1-0 mu mupiira gwayo ogwokubiri mu kibinja D mu mpaka za CHAN ezibumbujjira e Rwanda ekyasannyalazizza emikisa gy’okuyitamu. Micho yategeezezza abaamawulire oluvannyuma lw’omupiira nti talina kye yeekwasa olwa ttiimu ye okukubwa kyokka kizibu okubuusa amaaso ekya kapiteeni wa ttiimu ye obutabaawo.

Kapiteeni wa Cranes, Farouk Miya yafuna obuvune nga Cranes eremegana ne Mali ggoolo 2-2 ekyamulemesezza okuzannya ensiike ya Zambia. “Twatandise bulungi era abalenzi omupiira baagezezzaako naye ggoolo zigaanyi bugaanyi okunywa.

Tufunye emikisa mingi ne tulemwa okugikozesa bo ogwabwe ogumu ne bagukozesa era ne batutwalako obubonero, Micho bwe yategeezezza. Yagasseeko nti, “Waliwo n’abazannyi abanjiyeeyo naddala ku ludda olwa ddyo kubanga tevuddeyo mupiira gwonna gusazibwa mu kugezaako okukola emikisa omuva ggoolo ng’ate kino kye twayogeddeko oluvannyuma lw’ekitundu ekisooka.” Cranes kati yeetaaga kuwangula Zimbabwe gy’esembyayo ku Lwokusatu nga bw’esabirira Zambia ekube Mali mu nsiike endala.

Zambia yawezezza obubonero mukaaga n’ekakasa okwesogga ‘quarter’. Mali eyakubye Zimbabwe 1-0 eri ku bubonero buna sso nga Zimbabwe terinaayo kabonero.

Mu bimu Micho bye yeenyumirizaamu, bwe bumanyirivu ttiimu ye bw’efunye mu mpaka zino ssaako abazannyi abagenze basajjakula nga kati basobola okuzannya ku Cranes enkulu.

Micho yagambye nti agenda kuyita abazannyi bano nga Cranes yeetegera Burkina Faso mu z’okusunsulamu abalizannya eza Afrika omwaka ogujja e Gabon. Guno mulundi gwa Cranes gwakusatu nga yeetaba mu mpaka za CHAN kyokka enfunda ebbiri ezisembye, tevudde mu kibinja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...