TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Mesach bamukwatidde e Lwengo ng’atembeeya doola ez’ebicupuli

Mesach bamukwatidde e Lwengo ng’atembeeya doola ez’ebicupuli

By Musasi wa Bukedde

Added 7th February 2016

Mesach bamukwatidde e Lwengo ng’atembeeya doola ez’ebicupuli

Ok2 703x422

Ssekajja nga yeewozaako.

WAABADDEWO akanyoolagano mu kabuga k’e Kinoni mu disitulikiti y’e Lwengo omukazi Harriet Namisinga bwe yabadde awalabanya Mesach Ssekajja okumuyingiza ekkomera nga kigambibwa nti yabadde amufera.

Namisinga yabadde alemereddwa okumuyingiza mwannyina eyategeerekeseeko erya Bosco n’ayingirawo n’amuyambako ne bamuwalabanya okutuuka ku poliisi y’e Kinoni n’emuggalira.

Ggaayi ono abadde atera okweyita Henry aludde ng’afera abantu ne doola enfu z’atambuliza mu kabookisi ng’agamba nti waliwo eyazimulekera naye nga kati anoonya obukadde 14 okusiimuulako siiru nga bw’azimuwa ajja kumuddizaamu akawumbi kamu.

Baakoze ddiiru ne bagenda e Lwengo okunona ssente gye baamukwatidde. Yagguddwaako omusango gw’obufere ku fayiro nnamba SD: Ref:26/08/01/2016.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.