TOP

Namubiru bamupasuddeko maneja

By Musasi wa Bukedde

Added 12th February 2016

Namubiru bamupasuddeko maneja

Mu2 703x422

Flava (ku kkono)

EKUBA omunaku tekya, n’omuyimbi Iryn Namubiru ng’akyalwana okuddamu okwezuula adde ku ‘maapu’ mu kisaawe ky’okuyimba, ebintu bimusobedde muyimbi munne Coco Finger bw’amupasuddeko maneja gw’abadde alinamu essuubi okumuyambako.

Richard Sebadduka amanyiddwa nga Flava ye yapasuddwa. Gye buvuddeko, Namubiru yali alangiridde Flava okudda mu kifo ky’eyali maneja we era mwannyina, Thadeus Mubiru bwe baafuna obutakkaanya ne baawukana mu nkolagana y’emirimu.

 

Coco Finger w’atwalidde Sebadduka naye ng’ebintu tebimutambulira bulungi. Okuva naye bwe yali yayawukana n’eyali maneja we, Emma Carols Mulondo emyaka ebiri emabega abadde yeetisse omugugu omunene nga kumpi buli kimu y’akyekolera ekimukoseza mu nzirukanya y’emirimu.

Kino kimutadde mu mbeera ebadde emwetaagisa okufuna amuyamba n’okumutegeerera mu bintu ebimu. Sebadduka agamba ebintu bya Namubiru abadde tabitegeera bulungi kyokka nga kino tekitegeeza nti tebakyakolagana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ka1 220x290

Carol Nantongo bamukoledde akabaga...

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta