TOP

Minisita Amelia nga ozitowa!

By Musasi wa Bukedde

Added 18th February 2016

Mu bano mulimu Minisita w’Ebyobusuubuzi, amakolero n’obwegassi, Amelia Kyambadde eyeesimbyewo okukiikirira Mawokota North.

Male 703x422

Majjasi ng’asitudde Minisita Amelia Kyambadde.

AKALULU ka 2016 kawuubye abakulu ne katuusa n’abamu mu bitundu gye baali batasuubira.

Mu bano mulimu Minisita w’Ebyobusuubuzi, amakolero n’obwegassi, Amelia Kyambadde eyeesimbyewo okukiikirira Mawokota North.

Yayiseeko ku bizinga by’e Buyiga ng’ayigga akalulu. Yabadde alina okulinnya eryato limusomose era bwe yatuuse yatidde okulinnya mu mazzi okutuuka ku lukalu.

Bwatyo yafunye kanyama Habibu Majjasi n’amusitula okumuggya mu lyato okumutuusa ku lukalu okutuuka ku balonzi be abaabadde bamulindiridde.

Wabula ggaayi eyamusitudde yagenze okumussa wansi ng’awejjawejja nga bw’abuuza Minisita by’alya.

Wabula yabadde sitede bulungi nga kirabika emmere agiriira ddala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Malawo 220x290

Agula emmaali y’omufu mu bukyamu...

WADDE okufa tteeka naye kino tekikugaana kukola nnyo obeereko ebyobugagga by’olekera abantu bo ssinga Katonda abeera...

Ssenga1 220x290

Njagala kutandika bulamu

NNINA siriimu era mmaze naye emyaka egiwera. Baze yafa ne nsigala n’abaana naye kati mpulira nnina okufuna omusajja...

Img20190117wa0028 220x290

Sipiika alagidde Katuntu okuyimiriza...

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Kadaga alagidde akakiiko ka COSASE akakubirizibwa Katuntu akabuuliriza ku mivuyo egyetobeka...

Soma 220x290

Abatuuze katono batte be balumiriza...

ABATUUZE ku kyalo Kiryamuli mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso bakkakkanye ku basajja babiri abagambibwa...

Panda 220x290

Maneja Kavuma ayagala Abtex amuliyirire...

Olutalo lw’abategesi b’ebivvulu, Musa Kavuma (KT Events) ne Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abtex lusituse buto....