TOP

Hajji Kiyimba tatya kumenya mateeka!

By Musasi wa Bukedde

Added 30th April 2016

Hajji Kiyimba tatya kumenya mateeka!

Ku1 703x422

Emmotoka Hajji Kiyimba (mu katono) gy’avuga eteriiko nnamba.

SSENTEBE w’eggombolola y’e Nsangi, Hajji Abdu Kiyimba oba yeesiga ki? Kirabika takyatya mateeka okuvuga emmotoka eteriiko nnamba puleeti.

Abatuuze b’e Kazinga –Katale- Busawuula baasoose kwekengera mmotoka eno, kyokka oluvannyuma lw’okwetegereza nga Hajji Kiyimba y’agivuga ne beewuunya anti nga n’endabirwamu zaayo zaabadde nzirugavu.

Waliwo eyawuliddwa ng’agamba nti “Twandigambye nti osanga wa byakwerinda kyokka omwaka oguwedde Gen. Kayihura yamwegaanira ku muzikiti e Kibuli nga bw’atamumanyi mu byakwerinda”. Haji Kiyimba yabadde ku mukolo gw’okutongoza okukola oluguudo oluva e Seguku ku lw’e Ntebe okudda e Buddo ku lw’e Masaka.

Tetwategedde oba yafunye olukusa lwa poliisi y’ebidduka okuvuga mmotoka eteriiko nnamba puleeti oba poliisi y’ebidduka ye yatemako nnamba ya mmotoka ye!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fut2 220x290

Mao atabuse ne Muwanga Kivumbi...

Mao atabuse ne Muwanga Kivumbi lwa kumugaana

Khingt Kulabako wa UPC afudde

Khingt Kulabako wa UPC afudde

Lip 220x290

Nkumba by'esiba bikutuka e Misiri...

Nkumba by'esiba bikutuka e Misiri

Lab2 220x290

UNEB erangiridde ennaku z'okwewandiisa...

UNEB erangiridde ennaku z'okwewandiisa okukola ebigezo by'omwaka guno

Kab2 220x290

PAAPA Francis alonze Rev. Joseph...

PAAPA Francis alonze Rev. Joseph Oliach Eciru okubeera Omusumba w’e Soroti