CHRISTINE Nanyonga muzinyi wa kaliyoki. Wabula bw’aba anoonya ekikumi alina ebintu by’akozesa era agenda okudda awaka ng’omutwe gukyuseeko nga n’ensonyi azinaabye mu maaso.
Ekiddako kufuluma wabweru w’omuzigo gwe ng’ali mu kawale ak’omunda n’okuwemula buli gw’asanze.
Omu ku baliraanwa be Jane Nakato kimuyitiriddeko n’amuloopa ku LC. Bano batuuze b’omu Nsuwa Zooni mu Makindye. Jane yeegatiddwaako batuuze banne ne bategeeza ssentebe waabwe, Godfrey Mayinja nti Nanyonga bamukooye kubanga ku butafuga mumwa gwe agattako okubaagalira abasajja baabwe.
Mayinja yagambye nti guno mulundi gwakubiri nga bamuloopera Nanyonga n’amulabula okumukuba kibooko n’okumugoba ku kyalo ssinga teyeddako.