TOP

Abadde abanja 1,000/- bamusasuzza 11,000/-

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd May 2016

Abadde abanja 1,000/- bamusasuzza 11,000/-

Mag1 703x422

Owa Bodaboda ku ddyo ng'akwasa omusirkale ssente ate ku ddyo ng'omuvubuka alaga amagi owa boda geyayasizza

OMUVUZI wa bodaboda akutte omusaabaze amataayi okukkakkana ng’ayasizza amagi ge. Kigambibwa nti owa bodaboda yategeeraganye n’omusaabaze okuva e Kasubi okumutwala e Nakulabye n’ekibookisi ky’amagi ku 2,000/-. Kyokka olwamutuusizza ate n’amwefuulira ng’agamba nti alina okumwongerayo 1,000/-. Omusaabaze yamwegayiridde okumuleka agende n’ezo ze baategeeraganye n’agaana.

Owa boda yakutte ekibookisi n’akisika amagi ne gaatika ekyanyiizizza abantu omwabadde ne bamakanika b’omu kkoona ly’e Nakulabye ne bamuwambako pikipiki nga bagamba alina kusooka kusasula omusajja amagi ge.

Bwe yagaanyi kwe kumutwala ku poliisi ne bafuna omuserikale okugonjoola ensonga zaabwe. Gye byaggweeredde ng’aliyiridde ow’amagi 11,000/- ne balyoka bamuddiza pikipiki.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye