ONO katemba wa kufunirako ssente oba kyejo!
Omuzannyi wa komedi, Kapere azannyira mu Amarula Family katono asse abadigize enseko abalala ne batuuka n’okukaaba, bwe yayimbye nga Judith Babirye n’akola ne katemba okutuuka okumuggwaako kyokka nga tewali amufuuwa wadde ekikumi.
Kino kyamuggye mu mbeera n’atulika n’akaaba era abaamukwatiddwa ekisa okuli ne Afande Kirumira obwedda afuuwa buli alinnya ku siteegi.
Waliwo abaawuliddwa nga bagamba nti ab’e Nansana ssente zaabwe bw’otozikaabira tebazikuwa. Baabadde ku Big Zone e Nansana.