TOP

Ssebo ojja kunsiba naye sikuwa nzigi zange

By Musasi wa Bukedde

Added 8th May 2016

Ssebo ojja kunsiba naye sikuwa nzigi zange

Ma1 703x422

Mukiibi ng’alaga enzigi omugagga ze yagaana okusasula.

GEORGE Mukiibi ow’omu Kabaawo Zooni ng’akola nzigi n’amadirisa e Kibuye ali mu maziga. Omugagga Julius Bbaale owa Perfect Motel e Makindye amusibizza mu kaduukulu. Agamba nti yakola ddiiru n’omugagga ono amukolere enzigi 7 ez’ekizimbe kye ekisangibwa e Katwe.

Yamuwa ebyuma bya mitwalo 70 ate ng’omulimu alina kugukolera 4,500,000/- mu December wa 2015. Agamba nti enzigi olwaggwa, Bbaale n’atwala mmotoka okuzitikkako kyokka nga tasasudde wadde 100/-. Mukiibi bwe yagaana okuzimuwa n’amutwala ku poliisi y’e Katwe n’amuggulako omusango gw’obubbi.

Ekyaddako kumpita Abavubuka nga banyiga Magogo eyabadde abalemesa. Nsubuga n’ebintu bye yabbye ku poliisi e Kitebi. Mukiibi ng’alaga enzigi omugagga ze yagaana okusasula.

Magogo ng’amaanyi gamuwedde asaba bamusonyiwe. kukola sitatimenti n’oluvannyuma kunkwata ng’olwo omugagga ajingiridde lisiiti nga bwe yansasula 4,700,000/-. Mu April, nakwatibwa ne bantwala mu kkomera e Luzira gye namala olunaku lumu nga bantaddeko omusango gw’obubbi. Banzizaayo e Luzira gye namala ennaku 7 okutuusa lwe banneeyimiridde.

Kyokka omugagga Julius Bbaale yagambye nti yategeeragana ne Mukiibi okumukolera enzigi 4 n’amuwa 4,700,000/-.

Enzigi endala z’agamba baali tebannaba kutegeraagana ssente wadde okukkiriziganya zikolebwe. Bbaale yeewuunyizza Mukiibi okugaana okumuwa enzigi n’okumusaba ssente endala bwatyo n’amutwala mu kaduukulu. Omusango guddamu May 18, 2016 mu kkooti y’e Makindye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Rupiny1 220x290

Africell eyiye kavu wa bukadde...

KAMPUNI y’amasimu eya Africell etadde kavu wa bukadde 15 mu mpaka z’omupiira ez’okukuza amazaalibwa ga Yesu ezitegekeddwa...

Title 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YATUUSE DDA...

Militale etandise ebikwekweto bya Ssekukkulu era eyodde 200 abatigomya Kampala n’emiriraano.

Noise 220x290

Abatendeka baddereeva abamu ba...

BADDEREEVA okulemeramu okuvugisa ekibamo kivudde ku masomero mwe baayigira okuvuga agatalina bisaanyizo nga kye...

Plus 220x290

Bebe Cool awadde Bannayuganda essuubi...

OMUYIMBI Bebe Cool ayanjulidde Bannayuganda naddala abayimbi abakyanoonya okuvaayo ettu lye yabaleetedde okuva...

Fikfameika 220x290

Fik Fameica ali mu kkooti lwa kubba...

OMUYIMBI Fik Fameica bamututte mu kkooti ku bigambibwa nti yabba oluyimba.