TOP

Leila Kayondo baamusuula mu ffumbiro

By Musasi wa Bukedde

Added 17th May 2016

Leila Kayondo baamusuula mu ffumbiro

Mpu1 703x422

OLUVANNYUMA lw’ebbanga ng’omugagga SK Mbuga asiriikiridde, ku Lwokutaano y’omu ku bazze mu kivvulu kya Goodlyfe ku Hotel Africana. Ku luno teyayise na Leila Kayondo abasinga gwe babadde bamanyi.

Yabadde n’omugole Vivian Birungi. Kino kyaleetedde abantu okugamba nti kirabika Leila Kayondo baamusuula mu ffumbiro takyalya pate nga kati omugole y’aliwo. Mbuga ne Vivian obwedda bali mu kwekuba bwama n’okweraga amapenzi.

Abatamanyi mukyala ono baabadde balowooza nti Mbuga ayingizzaawo ekyana kubanga n’endabika yaakyo yabadde ewa essanyu nga kitaddeko omubiri nga n’olubuto lugezze. Wano banywanyi be we baatandikidde okumukuba olwali nti, ‘‘ssebo weebale emirimu tugirabye’’.

Ku kivvulu kino Mbuga yazze ne Meddie Ssentongo ekyewuunyisizza abantu. Ababiri bano baafunamu obutakkaanya gye buvuddeko Mbuga bwe yaloopa Meddie ku poliisi ng’amulumiriza okwekobaana ne Cameroon Gitawo ne bamufera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip1 220x290

Beti Kamya awadde Kitaka ekiragiro...

Beti Kamya awadde Kitaka ekiragiro Lukwago n'amukontola

Kid2 220x290

Ekiri mu Toto Festival e Namboole...

Ekiri mu Toto Festival e Namboole

Man2 220x290

Norman Musinga ayogedde ku by'okwawukana...

Norman Musinga ayogedde ku by'okwawukana ne mukyala we-Oyo omukazi anneesibako

Nom8 220x290

Norman Musinga mukyala we amuwadde...

Norman Musinga mukyala we amuwadde obukwakkulizo obukambwe nga baawukana

Nom3 220x290

Akulira ebidduka mu Kampala atabuse...

Akulira ebidduka mu Kampala atabuse nemukazi we