TOP

Lagu, okitukoledde!

By Musasi wa Bukedde

Added 7th June 2016

Lagu, okitukoledde!

Lag1 703x422

Lagu ng’abuuza abamu ku baana abaamusanyukidde.

BASSEREEBU abasinga bwe baba bakuza amazaalibwa gaabwe, bakola obubaga obw’ebbeeyi ne bayita abayimbi ne bannakatemba bannaabwe be balya nabo ebya ssava okulaga ssente.

Bino omuyimbi Lagu abigaanyi, amazaalibwa ge ag’e (tayogera myaka) yasazeewo okugajaguza n’abaana bakateeyamba n’abawa ebintu eby’okukozesa mu bulamu, okusala nabo keeki n’okubagabula ekyemisana.

Amazaalibwa gano yagakwatidde Namanve mu maka gaabwe aga ‘Daughters of Charity’ wiiki ewedde. Owoolugambo waffe atugambye nti abaana bano baamusanyukidde n’okumuyaayaanira okumukwatako nga bwe bamusaba abayimbiremu n’okumutegeeza nga bw’abakoledde olunaku.

Bwe yabadde avaayo yakwasizza omumyuka w’akulira amaka gano, Maama Specioza Namazzi ebikozesebwa eby’enjawulo omwabadde ssabbuuni, emigaati, ebbaafu, butto, engoye, ebyokunywa ne ssente emitwalo 20. Lagu yagambye nti bino tabikola kubanga mugagga wabula anoonya mpeera n’okusanyusa abatalina

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...