TOP

Nnalulungi bamusimbye bodaboda n’acacanca

By Musasi wa Bukedde

Added 9th June 2016

Nnalulungi bamusimbye bodaboda n’acacanca

Tu1 703x422

BAANABAWALA abaavuganyizza mu mpaka z’obwannalulungi bwa bbaala ya Ambiance ezaabadde ku bbaala eno e Mityana baalese abantu babanyeenyeza mitwe olw’obukugu mu kuyiiya n’okwolesa ebitone. Waliwo mwanamuwala eyeetimbye kondomu z’abasajja ate omulala ne yeesala ebyoya by’enkoko wamma abadigize ne basoberwa.

Abawala abasoba mu 10 be baazeetabyemu nga waasoose kubeerawo kuvuganya mu kwambala engoye ez’enjawulo ez’emikolo ne dizayini ez’enjawulo nga eza bbiici ne mu kisenge ezaacamudde abalabi.

Wabula maama Fiina yayingidde wakati mu mpaka olwo enduulu n’eva mu bawagizi era n’atuula we baabadde bamutegekedde.

Mu mpaka zino mwabaddemu n’okufuuwa emmindi nga baazikoleerezza ku siteegi ekyewuunyisizza Maama Fiina n’akuba munne gwe yazze naye akaama ng’alinga agamba nti abawala bano baabadde bamufuludde.

Trude Najuuko eyasinze yawangudde pikipiki Boxer nga yamuweereddwa akulira Ambiance y’e Mityana, Fred Nkuubi. Wansi ye Nkuubi (wakati). Ate owookubiri (ku ddyo) ye Najuuko n’abamu ku beetabye mu mpaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi

Kuba 220x290

Minisitule efulumizza entegeka...

MINISITA w’Ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni azzizzaamu abazadde, abayizi n’abasomesa essuubi nti singa...

Kip1 220x290

Geo Steady ne mukazi we, Prima...

Geo Steady ne mukazi we, Prima omulamwa gwa Corona bagutegeera

Lab1 220x290

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa...

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa mu kiseera kya Kalantiini

Shutterstockeditorial10434333bm 220x290

Coronavirus: Amerika kiri bubi,...

Corona ayongedde okwewanisa abantu emitima okwetooloola ensi yonna era Pulezidenti wa Amerika Donald Trump yalabudde...