TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Eyabadde awanula empale zitali zize ku 'waya' bamukubye mizibu

Eyabadde awanula empale zitali zize ku 'waya' bamukubye mizibu

By Musasi wa Bukedde

Added 16th June 2016

ABAAGEREESA nti kabwa kabbi kagumya mugongo baalutuusa anti, ne musajjamukulu ono gwe baasangirizza ng’awanula empale ku waya baamukubye mizibu naye nga tanyega.

Fufu 703x422

ABAAGEREESA nti kabwa kabbi kagumya mugongo baalutuusa anti, ne musajjamukulu ono gwe baasangirizza ng’awanula empale ku waya baamukubye mizibu naye nga tanyega.

Baamukwatidde Seguku ne bamukuba era poliisi ye yamutaasizza n’emutwala mu ddwaaliro e Mulago ng’atonnya musaayi.

Stephen Kaweesi, kigambibwa nti yaliimisizza omutuuze w’e Seguku ng’ayanise engoye ku waya n’ayanula empale era baamukutte amaze okugiteeka mu kaveera.

Abatuuze baludde nga beemulugunya ku bubbi bw’engoye okutuusa lwe baakutte Kaweesi.

Wabula omusajja ono bwe yabuuziddwa yategeezezza nti abadde avuga bodaboda, Fuso n'emutomera era n’emuwalula e Seguku ku mukaaga kati abadde anoonya kya kwambala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Keefa Kisala alinze Onduparaka...

Keefa Kisala alinze Onduparaka

Leb1 220x290

Eyavudde ku kkoligo akutudde Express...

Eyavudde ku kkoligo akutudde Express ento

Kit1 220x290

Ab'ebyokwerinda bawadde abatuuze...

Ab'ebyokwerinda bawadde abatuuze b'e Makerere Good Hope e kiragiro

Jab1 220x290

Eyafa amasannyalaze akwasizza abakulu...

Eyafa amasannyalaze akwasizza abakulu b'essomero lya Bright Future e Kawempe

Keb2 220x290

Omusawo agambibwa okufera obukadde...

Omusawo agambibwa okufera obukadde 34 ku musuubuzi akwatiddwa