TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Abadigize b'omu Kampala ekintu bakitutte ku level endala

Abadigize b'omu Kampala ekintu bakitutte ku level endala

By Musasi wa Bukedde

Added 31st August 2016

Abadigize b'omu Kampala ekintu bakitutte ku level endala

Ri1 703x422

Bannayuganda ku white party e Dubai

BANNAYUGANDA abadigize bakyekoze ku baga ka bannayuganda e Dubai.

Bannayuganda abanyumirwa okulya obulamu ekintu kati bakitutte ku ddaala lya waggulu NNYO oluvannyuma olw’okutalaaga kumpi buli kifo ekisanyukirwamu eky’omulembe mu ggwanga nga tewali kipya kye bakyafunayo, kati basazeewo kulinnya nnyonyi ku cakalira mitala w’amayanja.

Ku wiikendi kyayitiridde mu kibuga Dubai, ekibinja kya baana bawala abamanyiddwa okusula nga batiguka mu Kampala bwe basazeeko akabaga akaatumiddwa ‘White party’ ne bavuganya n’abaayo mu kulya kaasi n’okudigidda.

Akabaga kano akategekeddwa Sheila Patience amanyiddwa nga Nalongo Sheila Don Zella ng’ali wamu ne Rham Events kaabadde ku Republican lounge era nga kaasinze kujjumbirwa Bannayuganda abakolera e Dubai ne Abu Dhabi .

Mu bamu ku baddigize b’omu Kampala ab’olulango abataalutumidde mwana kw'abaddeko; Debbie Sempaka, Fifi Gal, Asheley, Liz Mulondo, Miles Rwamiti n’abalala.

Okuvuganya kwatandikidde bweru mu nnyambala, bwe bazze nga besaze ‘amata’ ntegeeza ngoye enjeru era nga buli omu ayingirawo na dizayini yi ye. Kalifah Aganaga ne Sheila Patience be bamu ku babakubye emiziki 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA