TOP

‘Abaana be nneezaalira banjagaliza ntaana’

By Musasi wa Bukedde

Added 16th October 2016

NAMUKADDE Anna Maria Nantume (86) ow’e Kawempe mu Mbogo Zooni 1 atutte bawala be basatu mu kkooti ng’abavunaana okubba ettaka lye nga beekobaana ne poliisi.

Kadde 703x422

NAMUKADDE Anna Maria Nantume (86) ow’e Kawempe mu Mbogo Zooni 1 atutte bawala be basatu mu kkooti ng’abavunaana okubba ettaka lye nga beekobaana ne poliisi.

Nantume yagambye nti bawala be bano okuli Harriet Nakabugo, Sarah Namuddu ne Deborah Namuli bamufuukidde ezzike nga kati batutte emyezi etaano tebamubuuza. Kiddiridde namukadde ono okuwa omu ku bawala be Eva Nantume ekitundu ku ttaka lye ekyanyiiza abalala ne basalawo kuliwamba.

Agamba yalaba embeera etabuse kwe kuyita aba LC ne poliisi bamuyambeko okugabanya ettaka bonna bafune ate ne basalawo okuwamba ekyapa kye n’okumuweereza obubaka obumutiisa okumukola ekikyamu singa tava ku bya ttaka wamu n’okuwamba emizigo gye egy’abapangisa gye yali azimbye.

Ssentebe w’ekyalo yalabudde abawala bano okukomya okwagaliza nnyabwe okufa bwe baba baagala ebintu bakole ebyabwe.

Namukadde yennyamidde ne kkooti okutandika okumubuzaabuza nga buli lw’agendayo bamutegeeza nga fayiro ye bwe yabula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko

Hop2 220x290

Abayizi boogedde eyabookezza

Abayizi boogedde eyabookezza

Bah3 220x290

Don Bahat akomyewo ku maapu.

Don Bahat awangudde engule mu mpaka za baseerebu e South Africa ne yewaana “abangoba bakongojja…”