EMMESE zaagudde ekiyiifuyiifu ku sitookisi za Imaam Sowedi ne zizirumaaluma katono zizimalewo.
Sowedi ye Imaam w’omuzikiti gw’e Kyamimbi mu ggombolola y’e Kayunga mu disitulikiti y’e Kayunga era yabadde ku mukolo ogw’okusonda ensimbi okuzimba omuzikiti omupya.
Nga bw’eri enkola y’Abasiraamu okuggyamu engatto nga bayingira mu muzikiti, ne Imaam kye yakoze.
Kyokka tetwategedde oba yabadde yeerabidde emmese kye zaakoze sitookisi. Musajjawattu yatuude naye nga gy’atunuzza ebigere abamu bafa nseko ate abalala nga bamusaasira.
Abamu baawuliddwa nga bagamba nti waakiri yandisigadde mu bigere okusinga okweswaza.
Oba nga bwe baabadde ku mukolo gw’okusonda ssente, naye bandimusondedde eza sitokisi.