TOP

Eyakomezza abasaabaze mu kkubo bamunyize ebitooliro

By Musasi wa Bukedde

Added 4th January 2017

Eyakomezza abasaabaze mu kkubo bamunyize ebitooliro

Tu1 703x422

TAKISI nnamba UAP 033U yavudde Mukono ng’ejja etikka abasaabaze nga kondakita abategeeza nga bw’ayingira mu paaka enkadde.

Kyokka olwatuuse ku kibangirizi kya Ssemateeka mu maaso ga Mapeera House ddereeva n’ayimirira. Yabuuseemu n’alekamu kondakita n’abasaabaze abaagaanyi okumusasula nga bagamba nti bamala kubatuusa mu paaka obwedda gye babagamba.

Olutalo lwatandise kondakita n’abasibiramu kyokka ne bamulwanyisa ne baggulawo ne bafuluma nga tebamuwadde ekikumi.

Ddereeva eyabadde alina we yeewoogomye yalabye ddiiru eyiise kwe kudda kyokka nga takyalina ky’ataasa. Kondakita yabadde agezaako okumunenya okumulekera abantu nga tabatuusizza gye balaga ne yeewozaako nti yabadde aguddemu ekidumusi era olugendo baaluvugidde bwereere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda

Kap1 220x290

Wawanirira Klezia ya St. Agnes...

Wawanirira Klezia ya St. Agnes Makindye

Lap2 220x290

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi...

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi

Mpa2 220x290

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera...

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi