TOP

Janet Jackson azaalidde bba eddenzi ku myaka 50

By Musasi wa Bukedde

Added 5th January 2017

Janet Jackson azaalidde bba eddenzi ku myaka 50

Ki1 703x422

OMUYIMBI Janet Jackson (ku ddyo) azaadde ku myaka 50. Ono ye mwanawe asoose ne bba, Wissam Al-Mana nga yakubyewo eddenzi lye yazadde obulungi wadde nga bangi baabadde balowooza nti wa kiso engeri gy’akuliridde.

Bangi baali tebasuubira mukyala ono, mwannyina w’omugenzi Micheal Jackson kufuna lubuto okutuusa mu April w’omwaka oguwedde lwe yasazaamu konsati ze n’assa obubaka ku mukutu gwe ogwa Twitter ng’agamba nti, munsonyiwe naye kino mbadde nnina okukikola ku lw’obulungi bwa famire yange, ebya konsati mbisazizzaamu.

Bw’ogattagatta enkyukakyuka mu ndabika ye ezaali zitandise okweraga, abantu we baatandikira nti alimu ettu ne kikakasibwa oluvannyuma.

Omukyala ono yagattibwa ne Al - Mana (ku kkono) mu 2012 era aludde ng’ayiiya ngeri gy’amuzaalira bbebi ku myaka egyo era abasawo bwe baamwekebejja ne bamukakasa nti asobola. Janet ng’amannya ge amatuufu ye Damita Janet Jackson, yazaalibwa May 16, 1966 mu kibuga Gary eky’essaza ly’e Indiana mu Amerika.

Yatandika okuyimba ne bakulu be abaali beegattira mu kibiina kya Jackson 5 mu 1976 okutuusa kati. Yasooka kufumbirwa muyimbi, James DeBarge mu gy’ekinaana n’azzaako omuzinyi, Rene Elizondo Jr gwe yayagala akabanga akatono wakati wa 1991 ne 1992 n’abivaamu ate bwe waayita emyaka 20 n’afunayo ono gwe yazaalidde ku Lwokubiri. Omwana baamutuubye Eissa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fish0webuse 220x290

Abavubi b'e Nkombe -Buikwe batabukidde...

Abavubi batabukidde ababaka baabwe abataddayo kubategeeza nsonga zibaluma eziteesebwako mu Palamneti ng'ate tebakkaanya...

Rab2 220x290

Nixon Agasirwe ayanise Kayihura...

Nixon Agasirwe ayanise Kayihura ku mmundu za Kitatta

Mbarara3 220x290

Lufulu y'e Kabaale eri ku ccupa!...

Lufulu y'e Kabaale eri ku ccupa! Yazimbibwa mu myaka 1950

2018arenalvrennes11 220x290

Eyali ssita wa Arsenal ayagala...

Sarr ye muzannyi asobola okuzannya ku wingi eya kkono n'eya ddyo ssaako wakati.

Bpluwalirangakawasaomubuliizimwanjeebisumuluzzobyemmotokaabakristaayogyebamugulidde 220x290

Mubuulire enjiri ey'amazima - Bp...

“Ebimu ku biteekeddwa okukolebwa mu kkanisa eno kwe kubuulira enjiri mu mazima, erokola abantu."