TOP

Omuyimbi Papa Cidy eyadduse ku Chameleon alokose

By Musasi wa Bukedde

Added 21st February 2017

OMUYIMBI Papa Cidy, eyayimba ‘Emmeeme katale’ naye alokose.

Dogs 703x422

Omuyimbi Papa Cidy ng'ayogera oluvannyuma lwa Paasita Kayanja okumwatuza Obulokole. Emabega we ye bayimbi banne; Cute Kaye ne Captain Dollar nabo abaawaddeyo obulamu bwabwe eri Yesu

OMUYIMBI Papa Cidy, eyayimba ‘Emmeeme katale’ naye alokose.

Papa Cidy yalokose ggulo ku Mmande ku Kkanisa ya Robert ne Jessica Kayanja eya Lubaga Miracle Centre Cathederal mu lukung'aana lw'enjiri olwa 77 Days Of Glory Season 2 (77DOGS2).

Ono yeegasse ku Cute Kaye eyayimba Omukwano gunkeese naye eyalabiseeko ku kkanisa y’Omusumba Robert Kayanja e Lubaga mu nnaku z’okusaba 77 n’attottola engeri ensi gy’emuyinzeemu katono afe.

Kaye yatuuse n’okuwa obujulizi nga bwe yatwalibwa ew’omusawo w’ekinnansi okumukolako emikolo ekyamuleetera ebisiraani n’okudda mu kyalo. 

Omuyimbi Captain Dollar naye yalokokedde mu lukung'aana lwe lumu omwezi oguwedde wamu ne Bad Black.

Papa Cidy yasoose kwabulira Leon Island nga tannalokoka

Papa Cidy omwezi oguwedde yadduse ewa mukama we Chameleon n'agenda okweyiiya ng'agamba nti emyaka 8 gy’amaze mu kibiina kya Leon Island akuze era kati kye kiseera okwetongola akulaakulanye ekitone kye.

Ono olwavuddeyo n’afulumya olutambi lwe yatuumye Magarita. 

Ebirala...

Omuyimbi Papa Cidy adduse ewa Chameleone

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono