TOP

Omuyimbi wa Golden Band afudde kkansa

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd February 2017

OMUYIMBI wa Golden band, Diana Namusoke (ku ddyo) afudde. Namusoke ye yayimba ennyimba okuli, Sirikyusa, Nsaba Abaami, Omulongosemu, Naabanga naawe, Anjagala ne Co - Driver abangi lwe basinga okumumanyirako.

Untitled2 703x422

Omugenzi Diana Namusoke

Namusoke amaze ebbanga ng’atwanyizibwa obulwadde bwa kkansa era yafudde misana ku Lwokubiri.

Mu December w’omwaka oguwedde, obulwadde bwamusuula ku ndiri n’agenda mu ddwaaliro era akulira bbandi ya Golden mw’abadde ayimbira, Musa Kavuma yategeezezza nti okugulu kuzzenga kumuluma nga kuzimba ne kukka naye gye buvuddeko baamukebedde ne bakizuula nti alina kkansa. A

badde mu ddwaaliro lya Mirembe Medical Center e Najjanankumbi era gye yafiiridde.

Eyo ne Fred Maiso eyaayimba Ekimuli kya Rosa era omu ku baatandika band ya Eagles Productions eyavaamu Golden band ne Da New Eagles gye yafiira mu February wa 2012.

Abasawo baakubidde Grace Ssekamatte ne bamutegeeza ku kufa kw’omuyimbi ono.

Namusoke abadde n’abaana basatu nga waakuziikibwa Mateete mu Ssaza ly’e Mawogola.

Okugenda mu band mw’abadde, naye yava mu Eagles Production n’asalawo okugenda ne Golden band nga Eagles esasise mu March wa 2014.

Asuubirwa okuziikibwa ku Lwokuna kyokka bwe bwazibidde eggulo (Olwokubiri) nga tekinakakasibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sev2 220x290

Museveni asisinkanye Abasumba ba...

Museveni asisinkanye Abasumba ba Klezia okuva mu Afrika

Kab2 220x290

Mukendeeze ku tulo musobole okweggya...

Mukendeeze ku tulo musobole okweggya mu bwavu-Museveni

Lab2 220x290

Wali muyigiriza ow'ekisa

Wali muyigiriza ow'ekisa

Lip2 220x290

Okufa kwa Namirimu kwatufumise...

Okufa kwa Namirimu kwatufumise nga ffumu

Tip2 220x290

Bannange nze siri mulogo ebyawongo...

Bannange nze siri mulogo ebyawongo bye bintawaanya