TOP

Mesach afunye akaseko ku matama

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd March 2017

Mesach afunye akaseko ku matama

Mi1 703x422

NG’EBULA ennaku mbale okutuuka ku lunaku lwa konsati ye, Mesach Semakula (ku ddyo) afunye ku kamwenyumwenyi. Omanyi loodi ono gye buvuddeko yalangirira nga bw’agenda okukola konsati era okufaananako abayimbi abanene, naye ku mulundi guno asoose na kivvulu kya bakungu ku Hotel African nga March 3, 2017 ng’alombojja olugendo lwe mu kuyimba.

Mu kaweefube w’okukunga ng’okunoonya obuwagizi, Semakula ennaku zino abadde atambula ofi isi ku ofi isi ng’asisinkana abakungu n’abagagga okubamatiza basobole okubeerayo bamuwagire. Olwa situleesi eno, kibadde kizibu okumusanga ng’aliko emboozi endala gy’anyumya okuggyako ebya konsati.

Wabula omu ku bayambi be yatugambye nti kati waatuuse takyali wa ssaala, kuba yonna gy’ayise bamulaze obuwagizi nga bagula tikiti ez’emitwalo 10 buli emu ez’emmeeza ez’akakadde buli emu ekimuleese n’akamwenyumwenyu ku matama. Ng’avudde ku Africana waakweyongerayo ku Freedom City ne ku Lagrand Hotel

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Easy 220x290

Ebireetedde abaagalana okutya okusiba...

OMUWENDO gw’abaagalana abatya okukola embaga gulinnye ebitundu 60 ku buli kikumi okuva mu 2002 okutuuka kati.

Napolivsliverpool1 220x290

Liverpool ne Napoli zeewulira amaanyi...

Ancelotti, atendeka Napoli agamba nti Liverpool temutiisa.

Nagiriinya1nu 220x290

Eyaliko yaaya wa Nagirinya bamukutte...

ABEEBYOKWERINDA bongedde amaanyi mu kunoonyereza ku batemu abaawamba oluvannyuma ne batta omuwala Maria Nagirinya....

Shecraneswebnew 220x290

She Cranes yeetegekera za Afrika...

Ttiimu y'eggwanga eya She Cranes etandise okwetegekera empaka za Afrika ezitandika omwezi ogujja e South Afrika...

Do 220x290

Poliisi erondoola aba boda 2 abaamanya...

ABAVUNAANIBWA okuwamba n’okutta Maria Nagirinya ne Ronald Kitayimbwa poliisi ebatutte ew’omusawo okubeekebejja...