TOP

Hajji Ashraf Simwogerere asula wagonda

By Musasi wa Bukedde

Added 17th March 2017

MWANA muwala Esther Nagawa abasinga gwe bamanyi nga Esther Nakitende bwe bakugamba nti yakoowa embeera embi n’ebimuwa situuleesi towakana anti kino okirabira ne ku misono gye yeesala ennaku zino (omuli ne sonsomola).

Kuba1 703x422

Nagawa omusawo (nurse) ate nga moddo abeera e Canada, mukyala wa Munnakatemba era omuzannyi wa fi rimu, Hajji Ashraf Simwogerere omuto ng’amulinamu abaana basatu.

Wabaddewo ebyogerwa ng’ababiri bano bwe batakyakwatagana wabula Hajji Simwogerere bwe yabuuziddwa ku nsonga eno yabiwakanyizza n’abiyita ebigambo by’abantu nti ye ne Nagawa obwedda gw’ayita bbebi n’agattako n’ebigambo ebirala ebimuwaana nti bali mu laavu nga ne mu February w’omwaka guno yazze mu Uganda okumulabako.

Yafuuka nkola ya Nagawa okwekubya ebifaananyi nga yeesaze emisono era abamu ku bantu obwedda abalaba ebifaananyi bagamba nti mukyala wa Simwogerere akaaye luno ate abalala Simwogerere asula bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lum1 220x290

LUMAAMA Francis alabudde abantu...

LUMAAMA Francis alabudde abantu okukomya okwetundako ebinja

Seg1 220x290

Omusibe afiiridde mu kaduukulu...

Omusibe afiiridde mu kaduukulu asattiza Poliisi y'e Namanve

Mus1 220x290

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo...

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo Polisi emunoonya

Kub1 220x290

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde...

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde ekibadde kimubuzizza

Mob1 220x290

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza...

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza ku mulimu lwa kwambala mmini