TOP

Mundeke nze mbadde nkung’aanya kasasiro wange

By Musasi wa Bukedde

Added 20th March 2017

Mundeke nze mbadde nkung’aanya kasasiro wange

Hu1 703x422

KABWA kabbi kagumya mugongo! Ono ggaayi obwedda atambula n’ekikutiya nga yeefudde ayoola kasasiro kyokka ng’asituliramu emmaali y’abasuubuzi. Waliwo eyamulabye ng’apakiriramu ebintu bye n’amukuba jjeeke.

Yamunyize ebitooliro n’awoloma. Bwe baamutuuzizza ku mudaala ne bamuyisaamu empi n’ebikonde n’amanya nti awedde n’atema omulanga nga bw’alaajana bamusonyiwe ng’awoza nti obwedda byateeka mu kkutiya kasasiro.

Baamukwatidde ku kizimbe kya Skylite okumpi n’omulyango oguyingira mu Kikuubo.

Bwe baamubuuzizza gyakolera n’abategeeza nti agula ‘damegi’ kyokka baagenze okukebera mu nsawo nga byonna ebirimu tebiriiko damegi. Oluvannyuma baamutadde n’abula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gala 220x290

Aba ManCity tebajulira Bravo

CLAUDI Bravo ayolekedde okuvundira ku katebe mu Man City oluvannyuma lw’Omubrazil Ederson, eyaakagulwa mu Benfica...

Gobwa1 220x290

Owa Leicester City akwatiddwa ku...

Leicester, eyawangula Premier mu sizoni ya 2015-16 efuumudde omutendesi Craig Shakespeare olw’okulemwa okulinnyisa...

Waga 220x290

Liverpool etimpudde Maribor ggoolo...

OMUTENDESI wa Liverpool, Jurgen Klopp atenderezza abazannyi be obuteesaasira nga bawuttula Maribor eya Slovenia...

Banga 220x290

'Real Madrid egule Harry Kane'...

EYALIKO Pulezidenti wa Real Madrid, Ramon Calderon awadde abakungu ba ttiimu eno amagezi, okugula Harry Kane okumuggya...

Pala 220x290

Engeri gy’osaggula omukwano mu...

ABASAJJA bangi mulemwa okusaggula obuwoomi bw‛akaboozi ate ne mwekwasa ng‛abakazi bwe batabacamudde, so ng‛ensobi...