TOP

Aba B2C basuubudde embooseera z’ebyana

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd April 2017

BATABANI ba Andy Mugerwa amanyiddwa nga Andy Events maneja w’ekibiina kya B2C naye nno tasaaga.

B2c1 703x422

BATABANI ba Andy Mugerwa amanyiddwa nga Andy Events maneja w’ekibiina kya B2C naye nno tasaaga.

Asuubudde manya aleese embooseera z’ebyana n’aziwa batabani be ne babigabana.

Omanyi abavubuka bano balina oluyimba olupya lwe bayita ‘‘Nnyongera’’ lwe baabadde bakwatira vidiyo wiiki ewedde olwo Mugerwa n’asalawo okubaleetera ebyana ebyaka.

Owoolugambo waffe atugambye nti abavubuka bano baasanyuse nnyo ne batandika okwetala era obwedda bamanyi okuva ku mulamwa ne basooka bakuba ebyana obwama n’okubiwaana nga Mugerwa abasaba kimu basooke bamalirize omulimu ogubasasuza.

 

Aba B2C kuliko: Richard Mugisha, Bob Rush ne Julius Kasajja. Batugambye nti vidiyo eno yakitaddemu ssente eziwera ng’era aba Swagz Avenue be baagikutte nga bw’awera nga bw’agenda okutandika okukungula ku byazze asiga kubanga luno oluyimba lulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo