TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Bebe yeekubye ttatu ya Zuena mu bulago n'amucamula: Aweze okumufiirako 'ppaka' bukadde

Bebe yeekubye ttatu ya Zuena mu bulago n'amucamula: Aweze okumufiirako 'ppaka' bukadde

By Musasi wa Bukedde

Added 5th April 2017

OMUYIMBI Big Size Bebe Cool laavu gy'alina eri mukazi we Zuena emusiiwa nga kavunza.

Pala0 703x422

OMUYIMBI Big Size Bebe Cool laavu gy'alina eri mukazi we Zuena emusiiwa nga kavunza.

Agava mu Gagamel galaga nga loodi ono bwe yabiteddemu engatto n'agenda mu bakafulu mu kukuba ttatu n'abalagira okussa erinnya lya mukazi we Zuena mu bulago.

Oba yakikoze kumujagulizaako mazaalibwa ge!! Omanyi buli 3/04, gaba mazaalibwa ga Zuena era ag'omwaka guno gaabaddeyo ku Mmande.

Bebe yasoose kwegatta n'abayimbi ba Sauti Sol, (abamu ku basinga okucamula Zuena) ne bamuyimbira akayimba k'amazaalibwa.

 

Kino kyacamudde Zuena era mu bubaka bwe yatadde ku Facebook yagambye nti;

" Mu butuufu Bebe Cool onjadde nnyo.. olaba otuuse n'okwekubya ttatu mu nsigo yo ng'eri mu mannya gange! Kiki kyennyinza okufuna ku mazaalibwa gange okusinga ekyo..... weebale kunjagala mukwano. 
Paka bukadde nga tuli ffembi".

Zuena era yategeezezza nti ategese akabaga k'amazaalibwa mu butongole ng'ali wamu n'abawagizi ba Bebe Cool ku Lwomukaaga luno nga 8, akagenda okubeera ku lyato ( boat cruise).

Kyokka akabaga kano kaakusasulira, tikiti eyaabulijjo ya 80,000 ate ey'ekikungu ya mitwalo 10.

Oba Zuena awezezza emeka egy'obukulu!! Nze naawe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga

Hat13 220x290

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega...

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega

Tum1 220x290

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi...

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi bw’ebisolo n’emmere